22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Lukululana ebadde etisse omuceere ekutte omuliro.

Emmotoka lukululana ebadde etisse omuceere ekutte omuliro n’ebeengeya.

Ebaddeko No. UAH 395M ng’ebadde eva Busia ng’edda Iganga.

Abadduukirize bagamba nti emmotoka eno ebadde etambula wabula ddereeva bw’ayimiriddeko ku town ye Iduudi, omuliro neguva mu mupiira n’etandika okwaka.

Police ye Iduudi mu district ye Bugweri yazoobye n’abavubuka ababadde bagufudde omugano nga banyagako ensawo z’omukyere n’obukuta nga kyejje eyandike okwaka.

Police ebadde eduumirwa ASP Baluku Alfred esobodde okubaako byetaasa ku mmotoka  nga tebinakwata muliro.

Related posts

Owek. Katikkiro yabangudde abavubi n’abatuuze ku mwalo gwe Kachanga ku Mukenenya.

OUR REPORTER

KITALO! Hajji Ssewava owa Sir Appolo Kaggwa Schools afudde.

OUR REPORTER

Ekibalo ekipya; Lwaki Pulezidenti akoze enkyukakyuka mu maggye

OUR REPORTER

Leave a Comment