AKAKIIKO Ka palamenti akalondoola enguudo mu kibuga Kampala kalagidde loodi meeya okutwala ensonga ez’okutiisibwatiibwa eri polisi okulaba ng’ ayambibwa.
Lukwago bw’abadde alabiseeko mu kakiiko kano akasabye okwekeneenya entalo ezigenda mu maaso ku City Hall kuba ziyinza okuggwa ng’ abamu ku bbo bafiiriddwa obulamu.

Lukwago ategeezezza ababaka nga gye buvudeeko minisita omubeezi owa Kampala, Kabuye Kyofatogabye bwe yamusindikira obubaka ng’amutiisatiisa n’agamba singa ekintu kyonna akimutuukako ayagadde abantu bamanye obuzibu we buva.

Ono atuuse n’okutegezeeza ababaka nti ebbanga lyamazze mu KCCA tafunangako bubaka okuva ewa minisita okumubuuza emirimu bwegitambula,wadde obubaka obumwagaliza amazaalibwa amalungi kuba leero gabadde mazaalibwa ge naye nga 27 omwezi oguwedde Ono yamuweereza obubaka obumutiisatiisa.
Ssentebe w’akakiiko kano, David Karubanga oOno amusabye okutegeezeza poliisi okulaba nga batunula mu nsonga eno.