Abamu ku bakulembeze b’ekibiina kya FDC bayisizza ekiteeso ekigoba abamu ku bakulira ekibiina nebalonda akakiiko ak’ekiseera okugira nga kakulembera ekibiina.
Ebiteeso bino babiyisirizza mu lutuula olwenjawulo olutudde ku wofiisi za Rtd.Col.Dr.Kiiza Besigye eyali president wa FDC ku Katonga road mu Kampala,oluvannyuma lwa kooti okusazaamu Ttabamiruka gwebaabadde bategese okutuula ku Nature’s Resort Busaabala.
Patrick Amuriat Oboi bamugobye ku bwa president bw’ekibiina kya FDC nebalonda Lord Mayor Ssalongo Erias Lukwago agire ng’akolanga president okumala ebbanga lya myezi 6.
Ssabawandiisi w’ekibiina Nandala Mafaabi bamusikizza Harold Kaija.
Mwijukye Francis ye muwanika ate Micheal Kabaziguluka alondeddwa okugira ng’akulira akakiiko k’eby’okulonda.
Endooliito zizze zeyongera okulonda ku kibiina kya FDC,oluvannyuma lw’amu ku bakulembeze ba FDC okulumiriza president Patrick Amuriat ne Ssaabawandiisi Nandala Mafaabi okubeera mu lukwe lw’okutunda ekibiina kyabwe eri ekibiina kya NRM ekikulembera eggwanga.
Babalumiriza nti n’ensimbi ezaavujjirira Amuriat okwesimbawo ku bwa president mu kalulu ka 2021 zaabawebwa NRM.