President Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni alagidde olukiiko lwaba minister be luddemu lwekeneenye embalirira y’eggwanga ey’omwaka 2023/2024, basalwo ku bintu ebisaasanyizibwako ensimbi ebirina okukendeezebwa, okuziba eddibu ly’ensimbi ezibadde zisuubirwa okuva mu World bank.
World bank yasazeewo okuyimiriza okuwola Uganda ensimbi, egiranga kuyisa tteeka erikangavvula abeenyigira mu mukwano n’obufumbo bw’abantu ab’ekikula ekimu.
Sssabaminista w’eggwanga Robinah Nabbanja abadde mu parliament naagamba nti president yamulagidde akuliremu omulimu gwokwetegereza embalirira y’eggwanga okuzuula ebintu ebiba bisali’wako ensimbi.
Nabbanja agambye nti bank yensi yonna okusalako Uganda ensimbi kyagiwadde essomo nti erina okukekkereza.

WAbula agambye nti government ya Uganda ekyateeseganya ne bank eno ,okugonjoola ensonga.
Thomas Tayebwa omumyuka wa sipiika wa parliament awabudde ababaka baleme kweraliikirira olwa bank yensi yonna okuyimiriza okuwola Uganda ensimbi, nti kubanga eggwanga terisaanye kuyimirirawo ku mabanja gokka.
Minister omubeezi owebyensimbi Henry Musaasizi abuulidde parliament nti ministry y’ebyensimbi ku ntandikwa y’omwezi oguggya ogwa September 2023, nti egenda kusisinkana obukiiko bwa parliament okuli akavunaanyizibwa ku byenfuna byeggwanga, kano nga kekekeneenya amabanja ga government.
Era yakusisinkana n’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’ensimbi awamu nakavunanyizibwa ku mbalirira y’eggwanga, okubwanjulira government byeyagala okukyuusa mu mbalirira y’eggwanga, okwanganga okusoomoozebwa okuliwo.
Embalirira yeggwanga eno eyomwaka 2023/2024 ya trillion 52.

Ku nsimbi ezo government yateekateeka okukungaanya omusolo gwa trillion 29 okuwanirira embalirira eno, ensimbi ezisigalawo trillion 23 yakuzeewola wano mu Uganda nebweru wa Uganda.
Bank yensi yonna yeemu ku bitongole gavunent gyesinga okweewola ensimbi okuwanirira embalirira yeggwanga okutuusa obuweereza eri bannansi okuli okuzimba enguudo, amalwaliro,amasomero nebirala
Bank y’ensi yonna okuyimiriza okuwola Uganda kyajjidde mu kiseera nga government kyejje eteekeyo okusaba Kwa trillion 2, zeyagala okukola enguudo mu kibuga Kampala ne district eziriraanye Kampala okuli Mpigi, Wakiso ne Mukono, nga zino zezimu ku zoolekedde okuyimirizibwa