21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Mabirizi ayagala kkooti eragire Bigirimana yeetonde.

Munnamateeka Male Mabirizi Kiwanuka addukidde mu kkooti enkulu nga ayagala ekake omuteesiteesi omukulu ow’ ekitongole ekiramuzi Pius Bigirimana okwetondera omulamuzi wa kkooti ensukkulumu Esther Kisaakye.

Mu musango gwatadde mu kkooti enkulu mu Kampala, Mabirizi ali mukomera olw’okunyooma kkooti agamba nti kyali kikyamu Bigirimana okuwandiikira omulamuzi ali ku ddaala lya Kisaakye nga amusaba annyonnyole lwaki tasasuzibwa omusaala gw’emyezi 9 gwabadde afuna nga tali ku mulimu.

Okusinziira ku mpaaba ya Mabirizi ebikolwa bya Bigirimana biyingirira obwetengeredde bw’ekitongole ekiramuzi kuba obuyinza bw’okubonereza omulamuzi si bwa muteesiteesi omukulu oba omuwandiisi w’ekitongole.

Mabirizi agamba nti Omulamuzi Kisaakye teyaweebwa mukisa kwewozaako nga bwekityo tewali bwenkanya ku ludda lwe. Ono ategeezezza nti kkooti ekkirize emuwe kyasabye bweba eyagala okukuuma ekitiibwa ky’ essiga eddamuzi.

Ono agasseeko nti n’ekifo kyennyini, Birigimana akiyima mu bukyamu kuba ensala ya kkooti etaputa ssemateeka eya 2020 yalaga nti essiga eddamuzi lyennyini lyeririna okwevunaanyizibwako okusobola okukuuma obwentegeredde bwalyo.

Mu 2017, aba Uganda Law Society  baddukira mu kkooti etaputa ssemateeka nga baagala esazeemu obuwaayiro obumu ku tteeka erifuga ensimbi eziweebwa ebitongole erya ‘Public Finance Management Act’ eryali liwa Palamenti ne gavumenti obuyinza ku kitongole ekiramuzi.

Kati Mabirizi ayagala  kkooti erangirire nti ekikolwa kya Pius Bigirimana ekya 1st July 2022 eri omulamuzi Kisaakye nti kyali kikyamu  era emukomeko amanye wakoma ku nsonga z’ekitongole ekiramuzi.

Bino webijjidde nga ebitongole ebyenjawulo bikyagenda mu maaso n’okuvumirira engeri omulamuzi Kisaakye gyayisiddwamu era mu bino mwalimu  ‘International Commission of Jurists’ abasaba wabeewo obwenkanya ku nsonga z’ omulamuzi ono.

Omulamuzi Kisakye yayatiikirira nnyo mu mwaka oguwedde bweyavaayo nawa ensala ekkanya n’omuwaabi mu musango gwa Robert Kyagulanyi mweyali awakanyiza obuwanguzi bwa Pulezidenti Museveni.

Kkooti bweyatuula okuwa ensala yaayo ku ky’okukkiriza Kyagulanyi okuleeta obujulizi obupya, omulamuzi Kisakye teyakkirizibwa kuwa nsala ye wadde yali tekkaanya nabalala.

Oluvannyuma Kisaakye yategeeza bannamawulire nti Ssaabalamuzi  Alphonse Owinyi-Dollo yali awambye ensala ye.

Related posts

Munnakatemba Kato Lubwama afudde!

OUR REPORTER

Akabenje ku luguudo lwe Jinja katuze 2.

OUR REPORTER

COSASE ekunyizza ekitongole kya mazzi ku by’abakozi abakola ennyo nga basasulwa kitono.

OUR REPORTER

Leave a Comment