MAKANIKA bamukutte lwa kubba ssimu n’aloopa gw’azze awa by’abba okubitunda naye n’akwatibwa.
Mike Ahirwe, 18, makanika e Makerere Kavule ng’afuuwa langi ku mmotoka yakwatiddwa olw’okubba essimu n’alonkoma Meddie Lukwago omutuuze w’omu Kibe zooni nga yagambye akolera mu Lufula y’oku Kaleerwe gwe yagambye baludde nga bakolagana buli lw’abba gw’awa n’atunda nga ne ku luno bwe gwabadde.

Frank Ssemanda yagambye nti Ahirwe yabaddeko mmotoka gy’akolako okufuuwa langi n’abba essimu y’omu ku munnaabwe nga bwe baamukutte n’abatwala mu kibanda kya firiimu gye baakukunudde Lukwago bano bombi bwe baatuusiddwa ku poliisi ne batandika okwerumaluma nga Ahirwe alumirizza Lukwago.