Yunivaasite y’e Makerere ewanjagidde gavumenti eyongere ku nsimbi ezissibwa mu kunoonyereza, n’okubangula abayizi abasoma ddiguli eyookusatu (PhD) abanoonyereza, kisobozese eggwanga okutuuka ku mutendera bannansi we balyenyumiririzaamu.
Bino bibadde mu lukungaana lw’abayizi abasoma ddiguli y’obwa dokita oluyitibwa Annual Doctoral Convention, oluyindidde ku yunivaasite e Makerere.
52 Amyuka cansala wa Makerere, polof. Barnabas Nawangwe ategeezezza nti gavumenti erina okusoosowaza ensonga y’okubangula abayizi abanoonyereza, kubanga bano bayamba nnyo mu kumalawo ebibamba ebitera okugwira eggwanga, ng’enjala, endwadde, nga bye bazuula byesigamizibwako nnyo mu kumalawo ebizibu eby’etakuza abantu emitwe.
Yanokoddeyo ekizibu ky’enjala eyatawaanyanga ennyo eggwanga, kyokka olw’okunoonyereza okukoleddwa ku by’emmere n’okulima, kino kyakendeerera ddala. Nawangwe yeebazizza gavumenti olw’ensimbi obuwumbi 30 eziweebwayo buli mwaka okuyambako mu kunoonyereza, kyokka n’agamba nti bwe zongerwako bingi bijja kukyuka.
Ye ssaabaminisita Robinah Nabbanja, mu bubaka bwe yatisse nnampala wa gavumenti, Hamson Obua yasuubizza nga gavumenti bwe yeesigamye ennyo ku bizuulibwa abanoonyereza, nga bye bazuula bigiyamba nnyo okukola amateeka agaganyula abantu, nga y’ensonga lwaki egenda kwongeramu nnyo amaanyi.
bukedde.co.ug&dtd=3012 Yategeezezza nti eno y’engeri yokka eggwanga bwe ligenda okutuuka mu luse lw’amawanga agali yaddeyaddeko, kubanga ejja kuyambako okulwanyisa endwadde, okukuuma obutonde, n’ebirala eby’enkizo.

Nabbanja yatenderezza amaanyi agaateekebwamu abanoonyereza ng’eggwanga lirumbiddwa ekirwadde ki Covid-19, nga ba kakensa baavaayo n’eddagala lya Covidex, n’ebintu ebirala bingi ebyayamba gavumenti okulinnya obulwadde buno ku nfeete.
Yasabye Makerere eyongere amaanyi mu kunoonyereza ku bugagga bwomuttaka, eby’enjigiriza, tekinologiya, n’ebirala, nga ne gavumenti bw’eyongera okuyambako.
Ye akulira abayizi abali ku ddiguli y’obwa dokita, Gerald Ahabwe yagambye nti ensimbi obuwumbi 30 eziweebwayo mu kunoonyereza zikoze kinene okuwanirira ekisaawe ekyo, kyokka okusinziira ku nsi ezituliraanye, ssente ezo zikyali ntono, ate nga Makerere ebadde ekyakola bulungi mu kunoonyereza, n’olwekyo zeetaaga okwongerwako.
Kinajjukirwa nti mu matikkira agaakaggwa, Makerere yatikkira abayivu ba ddiguli y’obwa dokita 102, abaakuguka mu bisaawe eby’enjawulo.