21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Makerere University yaakwongera amaanyi mu kusomesa ennimi ennansi.

Yunivaasite y’e Makerere yeeyamye okwongera amaanyi mu kusomesa ennimi ennansi, okuzaagazisa abantu, okuzinoonyerezaako, n’okuzisomesezaamu amasomo ag’enjawulo mu masomero, ng’abakugu bagamba nti kino kye kigenda okuyamba eggwanga okukula, kubanga n’ensi ezaakula zaasooka kunyweza nnimi zaazo.

Bino bibadde mu kujaguza emyaka 100 egy’ebbanguliro ly’eby’ennimi e Makerere eriyitibwa School of Languages, Literature and Communication, ng’ogumu ku bikujjuko bya Makerere okuweza emyaka 100, ng’omukolo gubadde Makerere.

Akulira ebbanguliro lino, Dr. Saudah Namyalo ategeezezza nti bannayuganda bangi bayiiya ebintu ebiwerako, kyokka olw’obuteekakasa nnimi zaabwe, balemererwa okubinnyonnyola abandibayambyeko okubikulaakulanya ne bawunzika nga baviiriddemu awo, sso nga kirungi omuntu asooke okutegeera olulimi lwe nga tannayiga ndala.

Namyalo yagambye nti kati bali ku kaweefube okulaba nga bakyusa ebisomesebwa mu masomero okubizza mu nnimi ennansi, nga kino kijja kusobozesa abayizi okutegeerera obulungi ebisomesebwa, kyokka yagambye nti kino kijja kutwalamu akaseera akawera olw’obudde obungi obwetaagisa okukola ku biwandiiko, wabula yasuubizza nti balina we batuuse.

Yayongeddeko nti mu kiseera nga bajaguza, beenyumiriza mu ky’okuba nti ebbanguliro ly’ebyennimi lye lyayola abantu abaafuula Makerere ey’ettutumu mu nsi yonna, nga muno mulimu eyaliko pulezidenti wa Tanzania Benjamin Mkapa, omuwandiisi w’ebitontome Okoti PB’itek, Ngugi wa Thiongo, n’abalala bangi, nga kati batunuulidde kulaba nga babangula bannalulimi abalala, yunivaasite eyongera okutinta.

Ye Dr. Aisha Nakiwala Ssembatya, ng’ono y’akulira ebbanguliro lya bannamawulire e Makerere yatenderezza enkizo y’ennimi mu kubangula bannamawulire, kubanga kino kiyambye abayizi bangi okukola amawulire agakyusa embeera z’abantu, nga bawandiikira mu mpapula z’ennimi ennansi ng’olwa Bukedde, n’endala. Yayongeddeko nti abayizi abatamanyi bulungi nnimi zaabwe basanga akaseera akazibu okuwandiika amawulire, era yunivaasite yasalawo okuwa abayizi abasoma amawulire, omukisa okwongera okusoma ennimi, kibanguyize omulimu guno.

Shirley Cathy Byakutaaga, omuwandiisi w’ebiyiiye mu lulimi orutooro yagambye nti ebbula ly’ensimbi likyalemesezza ennimi ennansi okukulaakulanyizibwa, nga n’abantu abazitegeera ennyo tebamanyi ngeri gye bayinza kuziganyulwamu, kyokka nga bangi basobola okuzikolamu ebiyiiye nga firimu, emizannyo, bitabo, ne beenogera ssente.

Byakutaaga yasabye Makerere eyongere amaanyi mu kumanyisa abantu ku nnimi zaabwe, kubanga bangi bagimanyi ng’ey’abayivu ekozesa olungereza lwokka nga tefa ku nnimi nzaaliranwa, ekitali kituufu.

Ku mukolo gwe gumu kwabaddeko okutongoza ebitabo ebyawandiikiddwa abakugu mu nnimi ennansi, okuli Anatooli Kiriggwajjo, Medadi Ssentanda, Sauda Namyalo, Kizza Mukasa, n’abalala, ng’ebitabo mulimu enkuluze (dictionary) y’olulimi orutooro, oluluuli, n’ebitabo ebirala.

Mu kiseera kino, yunivaasite esomesa ennimi okuli oluganda, runyoro, runyankore, olufaransa, oluchina, olucooli, runyakitara n’endala nnyingi.

Related posts

Emigga gyanjadde mu Lukaya.

OUR REPORTER

Omulangira Wasajja asabye abavubuka okwongera ku bitabo.

OUR REPORTER

Ekitongole ky’Obwakabaka ki Majestic Brand kyafunye Bboodi empya.

OUR REPORTER

Leave a Comment