Poliisi y’e Kyengera eri ku muyiggo gw’omuwala agambibwa okubba obukadde 7 ku muvubuka eyasangiddwa ng’afiiridde mu loogi e Kyengera.
Omuwala eyategeerekeseko erya Brenda y’ali mu kunoonyezebwa oluvannyuma lwa
Herbert Namugera 32, abadde akola ogw’okusuubula ebirime mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo okufiira mu loogi ya Channel 3 Guest House esangibwa mu Wakimese Cell mu Kyengera Town Council.
Omulambo gwa Namugera gwazuuliddwa omukozi eyakedde okulongoosa obusenge ng’ono yagenze okutuuka ku kasenge ka Namugera nga kagule kyokka nga yakaze dda.
Namugera mu Kyengera yatuukamu Lwakutaano March 3, ng’ava e Ssemabule gy’abadde akolera ne kitaawe omuto ogw’okusubula ebirime era nga kigambibwa nti ono yasooka kukung’aanya ssente ezisoba mu bukadde 7 ze yajja nazo okugoba ku by’okugenda ku kyeyo.
Ono yatuukira ku loogi ya Planet e Wakimese Kyengera okumpi ne wa mukwano gwe Muhammad Luyiga abadde amuyambako okumugobera ku mpapula ezimutwala ku kyeyo.
Mu kifo kye kimu we yabadde yaakamala ennaku ssatu kyategeerekese nti Namugera yaganzaamu omuwala omulala eyategeerekeseko erya Eva, era bwe yakitegedde nti baamuguddemu ku Mmande ya wiiki ewedde yasazeewo okukyusa ekifo n’adda ku Channel 3 Guest House nga nayo esangibwa Kyengera Wakimese kyokka yasigadde awuliziganya ne Brenda gwe yasooka okuganza ku ssimu era ono gye yamusanze ne bagenda mu maaaso n’okulya obulamu.

Priscilla Atukunda omu ku bakola ku Channel 3, Namugera we yafiiridde yategeezezza nti ono abadde yaakamala ennaku mukaaga mu kifo kino.
Kigambibwa nti ku bbanga Brenda lye yamala ne Namugera yali amaze okukitegeera nti alina ssente mu nsawo ye era n’atandika okuluka olukwe lw’okuzibba nga kigambibwa nti ku ku Lwokuna Brenda lwe yasembayo okulabwako ne Namugera era baasiiba banywa.
Atukunda yannyonnyodde nti agenda okutuuka ku Lwokuna kumakya yasanga akasenge ka Namugera kaggule kyokka ng’ali mu ttulo otutagambika era bwe yamuzukusa okumubuza lwaki teyegalidde yamubuuza kimu Brenda aliwa.
Ku bbali waaliwo ekikoofiira kya Brenda n’obugatto bwe yalimu era Namugera agenda okukebera we yali atadde ssente ze nga taziraba we yategeerera nti zibbiddwa.
Ekifo kino kiriko ggeeti eyali ensibe mu kiro ekyo era nga kiteeberezebwa nti Brenda okufuluma yabuuka kikomera kyokka ekyebuzibwa ani eyamuyambako.
Luyiga yategeezezza nti bamanyiganye n’omugenzi emyaka egisooba mu 10, era nga Namugera amukubira essimu ku Mmande kumakya ng’amutegeeza nga bwe yazze ng’ayagala amuyambeko okumuyunga ku bantu abanaamukolera ku nsonga za paasipooti n’empapula ezimutwala ku kyeyo.
Yagambye nti ono yali yatandika dda okugoba ku nsonga zino kyokka paasipooti n’emubulako nga kati yabadde aze okuddamu okugoba ku by’okufuna empya n’okugoba ku mpapula endala.
Mu kumusinsikana yali amaze okukyusa loogi ng’ali ku Channel 3 guest House era yamutegeezako ku muwala Brenda gwe yali aganzizza okuva ku ka loogi ka Planet we yatuukira.
Ku Lwokutaano lwa wiiki wedde, Namugera lwe yabadde agenda ku internal Affairs okuggyayo paassipooti ye era nga yalina okugenda ne Luyiga kyokka Luyiga yagenda okukuba ku ssimu ye nga tagikwata kwe kwesitula nagenda ku loogi alabe ekyatuuse ku munne.
Yamusanga ali mu kiyongobero oluvannyuma lw’omuwala okumubbako ssente obukadde 7 ng’omusango guli ku ffayiro namba SDREF; 21/10/3/2023 ku poliisi y’e Kyengera.
Agamba nti yamuwa amagezi okugenda ku poliisi e Kyengera aggulewo omusango era ne batandika okuyigga omuwala nga bakolagana ne poliisi nga balondoola essimu ye kyokka ng’eraga nti ali mu bitundu by’e Zana ku lw’Entebbe.
Robert Walugembe akulira ebyokwerinda ku kyalo yategeezezza nti yafunye essimu okuva ew’abaddukanya loogi eno nga bamutegeeza nga bwe waliwo kasitoma waabwe afudde kwe kutemya ku poliisi eyatuuse ne yeekebejja omulambo oluvannyuma n’egutwala mu ggwanika.
Patrick Onyango omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiraano yategeezezza nti Namugera yabadde alina Malaya gwe yaganzizza eyamubbyeko ssente obukadde 7, poliisi gw’enoonya okugiyambako mu kunoonyereza okuzuula ekituufu ekyamuviiriddeko okufa.
Poliisi yagguddewo ffayiro SDREF 15/03/11/2023 mu kunoonyereza ku musango guno.