Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka, Oweek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma, atenderezza kaweefube wa Ssaabasajja Kabaka, ow’okutumbula embeera ez’ebyobulamu bw’abantu be.
Bino Oweek. Nankindu yabyogedde bwe yabaddde atongozza enteekateeka ey’okugaba omusaayi egenda okumala ennaku 5 mu ggombolola ya Ssaabagabo, Muduuma, e Mawokota.
Nankindu yagambye nti Ssaabasajja Kabaka tumulabye emirundi mingi nnyo ng’avaayo n’akulemberamu kaweefube w’okutumbula embeera z’ebyobulamu mu Ggwanga.
Akikkaatirizza nti Omutanda ataddewo enteekateeka ez’enjawulo eziri ku mulamwa ogutumbula eby’obulamu omuli; emisinde gy’amazaalibwa ge; okukubiriza abantu okugaba omusaayi; okugema Hepatitis B; n’ensiisira ez’ebyobulamu ezitambuzibwa mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo.
Omwami w’Essaza ly’e Mawokota, Oweek. Gabriel Kabonge mu kwogera kwe, asabye Obwakabaka okwongera okussa enteekateeka y’okugaba omusaayi ku kalenda yaabwo ey’omwaka mu ngere ey’okwongera okutumbula kaweefube ono, kisikirize ne gavumenti eyawakati okwenyigiramu.
Omubaka wa Mawokota North mu Palamenti, Hon. Hillary Kiyaga amanyiddwa nga Dr. Hilderman yeemulugunyizza ku ngeri etamatiza gavumenti gy’ekuttemu ensonga z’ebyobulamu, ne wankubadde nga eweebwa ensimbi ku nsonga eno mu bajeti y’eggwanga.
Ssenkulu w’ekitongole ki Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa Ndagala agambye abantu basobolera ddala okwetereereza eby’obulamu ebisoboka okumalawo okusomoozebwa okwakagenderere.
Mu nteekateeka eno, unit z’omusaayi 1293 ze zakakungaanyizibwa okuva mu bitundu by’e Mawokota eby’enjawulo, ate n’enkyagenda mu maaso.