KATIKKIRO Charles Peter Mayiga asabye amasinzizo okuwaayo essaala ey’enjawulo okwebaza Katonda olw’obulamu bw’awadde Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okutuusa kati. Mayiga yagambye nti Obuganda busaanye okwegattira awamu okwebaza Katonda olw’emyaka 68 Kabaka gy’agenda okuweza ku Lwokuna lwa wiiki ejja nga April 13, 2023 era n’asaba bannaddiini bonna okukulemberamu ensonga eno.
“Nga twetegekera okujaguza amazaalibwa ga Nnyinnimu nsaba amasinzizo ag’enjawulo gabeere n’essaala ey’enjawulo naddala ku mazaalibwa gano bwe gazze mu kiseera ky’Amazuukira ate nga n’Abayisiraamu bali mu kiseera ky’Ekisiibo,” Mayiga bwe yasabye.
Katikkiro yagambye nti, ku Lwokutaano nga April 7, 2023 wajja kubaawo okusaala okw’enjawulo mu mizikiti , April 8,

2023 okusaba mu masinzizzo g’Abaseveniside ate ku Paasika nga April 9, 2023, okusaba kukolebwe mu Klezia ne mu kkanisa. Mayiga yategeezezza nti, enteekateeka zonna ezikwata ku mukolo gw’amazaalibwa ga Kabaka zaakwanjulwa eri Obuganda okweteekateeka obulungi.
Okwogera bino yabadde Bulange-Mmengo ku Lwokusatu ng’asisinkanye Ababiito b’e Sanje-Buddu abaakulembeddwa Ssaababiito Paul Kalema Lutayinzibwa. Mayiga yeebazizza Ssaababiito wamu ne bazzukulu be olwa bulijjo obutakoowa kwenyigira mu mirimu egitwala Obuganda mu maaso era n’asabaebika okwettanira tekinologiya kubanga guno mulembe gwa bintu kuteekebwa ku mutimbagano.
Ssaababiito Kalema eyayise ne Katikkiro we Cosma Kansere, yajjukizza Katikkiro ku nsonga z’olubiri lwe Nangoma mu ggombolola y’e Kyebe nga bwe lwetaaga okuddaabiriza n’ekifo okukolerwako emirimu egitali gimu abasaatuusi baleme kugamba nti tekiriiko nnannyinni kyo