Katikkiro Charles Peter Mayiga amaliriza okulambula amawanga agali mu bukiika kkono bwa Bulaaya agamanyiddwa nga ‘Scandinavian Countries’ gyabadde yagenda okutumbula enteekateeka za Buganda ez’enjawulo.
Owek. Mayiga obugenyi yabukomekereza n’ekijjulo ekimutegekeddwa olukiiko lw’ omubaka wa Kabaka, Owek. Nelson Mugenyi.
Bano Kamalabyonna yabalekedde entanda nga yasumuluddwa Owek. Prosperous Nankindu Kavuma, Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka era nabeebaza olw’okumwaniriza n’okumulabirira obulungi.
Okusinziira ku Katikkiro Mayiga ye ne banne bwebatambudde baliko ebikulu byebayize byebagenda okutandikirako nga bazze ku butaka era nabasuubizza okuddayo abannyonnyole ku nsonga Ssemasonga naddala esooka ey’okutaasa n’okukuuma Nnamulondo.
Ye Minisita Nankindu yasabye bannayuganda abawangaalira eno babeeko enteekateeka eyawamu gyebatandikawo buli luvannyuma lwa myaka 2 abantu baayo basobole okwongera okumanyisa ku bikwata ku Buganda.
Owek. Nankindu yeebazizza abakyala abeetabye mu nteekateeka y’omulundi guno era nabasaba okwongera okuleeta bannabwe basobole okwenyigira obutereevu mu nsonga za Buganda.
Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Scandinavia, Owek. Nelson Mugenyi yeebazizza nnyo Katikkiro okubasoosowaza ku mulundi guno oluvannyuma lw’ebbanga nga tatambula.
Kamalabyonna yalambudde amawanga ag’enjawulo omuli Norway, Netherlands ne Sweden.
Oluvannyuma lw’ekijjulo Katikkiro Mayiga ne ttiimu ye bayolekedde Scotland okumanyisa abaayo enteekateeka za Buganda.