Bya Jimmy Nteza Lionel Messi oluvanyuma lwe myaka 21 nga ali kukirabbu ya Barcelona, n’okujiwangulira buli kikopo, yatambuddemu neyegatta ku PSG, wabula nga kyalese ebibuuzo bingi mu ngeri gyaleseemu ttiimu eno kubanga yabadde atambulirwako ensonga. Wabula mu basambi abaguliddwa ku Barcelona, omusambi Memphis Depay akyataddewo omutindo oguyinza okwerabiza ttiimu eno netajjulirira Messi. Ono bukyanga yegatta ku Barcelona, ajiteebedde goolo 3 ate nga ajiyambye n’okujiwangulira obubonero 3 ku mupiira gwa Getafe ogwwali guganye. Omutindo gwa Depay tegukomye wano, wabula ne ku ggwanga lye erya Netherlands agwolesa era nga mu mipiira gy’ensi egyakakomekerezebwa, yasoboddeokuteeba ne goolo 3 mu mupiira gwa Turkey era nga yakulembedde abateebi ne goolo 7
