Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi Charles Okello Engola attiddwa omukuumi we omujaasi wa UPDF bw’amukubye amasasi agamuttiddewo e Kyanja.

Bibadde Kyanja enkya ya leero ya leero era omukuumi bw’amaze okumukuba naye ne yeekuba amasasi agamusse. Sipiika wa Palamenti Anita Among asinzidde mu lutuula lwa Palamenti olutudde enkya ya leero n’abikira ababaka n’eggwanga lyonna