21.9 C
Los Angeles
June 3, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Minisita Kaboyo alabudde abakyala abalera engalo.

MINISITA omubeezi ow’akanyigo k’e Luweero Alice Kaboyo alabudde abakyala abalera engalo ne balinda abaami baabwe okubawa ssente nti ensi egenda kubaleka n’okusigala emabega.

Asinzidde ku kisaaawe e Katikamu mu Luweero ku mukolo gwa bakyala n’ategeeza nga gavumenti bw’etaddewo embeera esobozesa abakyala okwekolera omuli okubawola ensimbi nga bayita mu nkola ya UWEPI n’enkola endala nga Bonnabagaggawale, Emyooga, Parish Development Model n’endala n’abasa okwenyigira mu nteekateeka zino.

Wabula, avumiridde obutabanguko mu maka obuvaako abaana okukuzibwa obubi ne bafuuka ekizibu. Muky. Kaboyo asabye abazadde okusomesa abaana kyenkanyi n’okubakuliza mu mpisa ennungi.

Omubaka omukazi owa Luweero Brenda Nabukenya asabye gavumenti okwongera okuyiwa ensimbi mu bibiina bya bakyala n’abavubuka naddala ababeera bafunye obukugu so si kumala gaziwa bateetegese ne zitabagasa.

Kino kiddiridde ssentebe w’olukiiko lwa bakyala mu disitulikiti ya Luweero okutegeeza nga abakyala abaafuna ensimbi okuva mu gavumenti abasinga bwe bakyalemeddwa okuzizzaayo n’abalala bafune.

Related posts

Abakyala babuuliriddwa okulwanirira eddembe lyabwe.

OUR REPORTER

ABASAWO BATIISIZZA OKUTWAALA ABA DOTT SERVICES LTD MU KKOOTI LWA KUMENYA MUKUTU GWA KAZAMBI NEBATAGUZIBIKIRA,

OUR REPORTER

Katikkiro Mayiga awadde gavumenti eya wakati amagezi.

OUR REPORTER

Leave a Comment