Minisita avunaanyizibwa ku lulimi, Embiri, Ennono n’Obuwangwa, Owek. David Kyewalabye Male abangudde abayizi b’ettendekero lya Rotary Peace Center e Makerere University ku ngeri ennono n’obuwangwa gyebisobola okukozesebwa okukuuma emirembe.
Ensisinkano eno yayindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu era wano Owek. Kyewalabye yabategeezezza ku nnono ez’enjawulo eziwangadde ebyaasa nga zonna zagenderera kukuuma mirembe.
” Tetulondawo mirembe nti tubeera banafu naye bwotunuulira ebigenda mu maaso mu Russia ne Ukraine tekuli muwanguzi naye abantu babonaabona era tusaba nti lumu abali emabega w’olutalo luno banalaba obwetaaga bw’ emirembe. Ffe bajjajja ffe bayagala nnyo emirembe era Obwakabaka bwaffe bwogerwako nga obwali butegekeddwa obulungi,” Owek. Kyewalabye bweyategeezezza
Ono yagasseeko nti Buganda yazimbibwa n’enkola ezigonjoola ensonga okuli Olukiiko olukulu olwa Buganda, balamulanga ensonga mu bika nga zisobola okutuukira ddala ewa Kabaka nga kino kyonna kyali mu kusaawo mirembe.
Minisita Male agambye nti Abaganda bateekanga amagezi ag’enjawulo mu mpisa ne nneeyisa awamu n’ennono nga bino byebyayitimusa Buganda nefuuka eky’okulabirako eri ebitundu ebirala.
Abayizi bano basibuka mu mawanga agenjawulo okuli Nigeria , Argentina, Kenya , Ghana namalala era basibwamu ensimbi ekibiina ki Rotary era bamannyiddwa nga Rotary Peace Fellows.
Minisita Kyewalabye yannyonyodde nti obugunjufu nempisa za Buganda mu kunnyweza Obumu nokukuuma eddembe mu bantu byebimu ku mpagi enkulu abayizi bano zebeetaga okumannya okugussa amasomo gebaliko era mukubangula kwe bino abisizaako essira.
Okusinziira ku Minisita Kyewalabye eno y’ensonga lwaki Obwakabaka bwasindika abantu e Busoga Bugisu okubangula abaayo ku nteekateeka ez’enjawulo nga kino n’abazungu abajja wano bakiwaako obujulizi mu bbaluwa gyebawandiikira Nnaabakyala wa Bungereza.
Omusomesa eyakulembeddemu abayizi bano, Ivan Bwowe yeebaziza Obwakabaka olw’okukolaganira wamu nabo okulaba nga babaako ettofaali eddene lyebagatta ku bayizi ekibasobozesa okufuluma nga bakugusse nga bwebateekeddwa.
Bwowe agamba nti bukya Buganda ebawa omukisa guno abayizi babwe bangi bagatiddwako kinene.