MINISITA w’ebyamateeka, Nobert Mao awabudde poliisi ku kukuba enkuhhaana, n’agamba nti okukuba olukuhhaana tekyetaagisa lukusa lwa poliisi wabula okugitegeezaako obutegeeza.
Minisitule Mao yagambye nti babaga ekiwandiiko ekinaaluhhamya poliisi ku ngeri gy’erina okweyingiza mu nkuhhaana, kubanga mu kiseera kino etteeka kye ligamba bo si kye bakola.
Bino Mao yabyogeredde ku mukolo ogw’okutongoza lipooti y’akakiiko k’eddembe ly’obuntu ey’omwaka oguwedde 2022, ogwabadde ku Protea Hotel mu Kampala ku Lwokutaano oluwedde.
Mao yagambye nti ekizibu kya Uganda si kubulwa mateeka, wabula abagateekesa mu nkola be bakola mu ngeri ey’ekibogwe. Yawadde ekyokulabirako ekya poliisi okusikahhana ebitogi n’abantu abaagala okukuba enkuhhaana n’addala bannabyabufuzi, okukkakkana nga waliwo abalumiziddwa n’eddembe lyabwe eribaweebwa ssematteeka ne libaggyibwako.

Bannayuganda naddala abeebyobufuzi bazze beemulugunya ku nkola ya poliisi ey’okubakugiranga okukuba enkuhhaana nga poliisi yeekwasa etteeka eriruhhamya enkuhhaana erya Public Order Management Act 2013, ly’egamba nti, liwa poliisi obuyinza okugumbulula enkuhhaana ezikolebwa nga tebagisabye lukusa.
Mao yagambye nti poliisi eritaputa bubi, nga kye kyawalirizza Minisitule ye okukola ekiwandiiko ekinaaluhhamya poliisi.
Ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu, Mariam Wangadya ye yasoose okulangirira nti poliisi kye kitongole kya Gavumenti abantu kye basinga okwemulugunyaako n’okuwawaabira mu kakiiko wadde akakiiko kagezezzaako okusomesa abaserikale naye tebakyusa.
Yagambye nti omwaka oguwedde, baafuna emisango gy’okutyoboola eddembe ly’obuntu 4,370 ne baanoonyereza ku 691.