Omumyuka wa Ssabaminisita owookusatu, Hajat Lukia Nakadaama Isanga asabye buli muntu akangule ku ddoboozi avumirire ebikolwa ebityoboola eddembe ly’abaana.
Hajat Nakadaama abadde ku kitebe kya Madada Foundation ku mukolo ogw’okukuza olunaku lw’omwana wa Africa wamu n’okutongoza enteekateeka etuumiddwa Holistic Devt. of a child nga ya myaka etaano.
Agamba nti abaana bangi bakyatulugunyizibwa mu ggwanga n’abamu tebasoma.
Alabudde abantu bakomye okubinika abaana emirimu egibasukkiridde omuli okutembeeya, okupakasa, okwasa amayinja n’okukola mu birombe by’omusenyu kubanga emirimu egyo giteeka obulamu bw’abaana mu katyabaga omuli okuttibwa n’abawala okubasobyako.
Eyali minisita w’abalema n’abakadde, Sulaiman Kyebakoze Madada agambye nti balina enteekateeka ey’okulaba ng’ eddembe ly’abaana litumbulwa ate era nga bakuzibwa n’empisa wamu n’okubabangula mu mirimu egy’omu mutwe.
Buli ssomero lyakubeera n’ennimiro y’enva n’emmere okuwonya abaana okulya akawunga buli lunaku.
Enteekateeka eno ya myaka etaano era nga mulimu n’okusimba emiti egy’ebibala ,enku n’embaawo obukadde 10 era nga bawagirwa ekitongole ky’ebibira ne disitulikiti y’e Kayunga.
Omubaka wa Bbaale mu palamenti, Charles Tebandeke agamba nti ekizibu ky’alina ne NRM kye ky’okulemwa okutuusa obuweereza omuli amazzi amayonjo, enguudo nga n’olwa Bbaale- Galiraaya mw’olutwalidde.
Tebandeke agambye nti ebyenjigiriza ly’ekkubo erisobola okubbulula abantu b’e Bbaale mu bwavu.