22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Minisita ow’ebyenjgiriza  Kaducu atandise okulambula amasomero.

MINISITA w’eggwanga ow’ebyenjgiriza Joyce Moriku Kaducu atandise okulambula amasomero mu ggwanga, alabe embeera mwe gakolera. Yasookedde mu Munisipaali
ne disitulikiti y’e Mityana ku Lwokubiri. Minisita ng’atuuka e Mityana, abakulembeze ba disitulikiti n’abatwala

ebyenjigiriza tebaasoose kumanya era RDC Africano Ahalikundia
yamwegasseeko nga tasoose kubagulizibwako. Ku kyalo Kikumbi mu divizoni ya Ttamu, Minisita alina essomero lye yasanze na lisuza abaana babiri babiri ku kitanda

kimu, ng’ebisulo bitono ate nga bajama. Minista yalagidd ekisulo ky’essomero lino kiggalwe n’alagira abalikulira okutereeza buli kyabadde kibulawo ng’olusoma oluddako
terunnatandika. “Tetusobola kukkiriza baana kubeera mu mbeera bw’eti era ekisulo kirina okukoma mu bwangu ddala”, Minisita Kaducu bwe yalagidde.

Related posts

Meet Ugandan Tycoon Who Built His Own White House & Why He Chose It.

OUR REPORTER

Bakkansala b’e Kira obukiikko babulondedde ku muddumu gwa mmundu.

OUR REPORTER

Katikkiro Mayiga ayongedde okutalaaga Mutuba II  Makindye.

OUR REPORTER

Leave a Comment