Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Okwewummuzaamu mu Bwakabaka Owek. Henry Ssekabembe Kiberu akubiriza abantu ba Beene okwesigama ku bumu ku buli kyebakola basobole okulaakulana n’okuzza Buganda ku ntikko.
Obubaka buno, Owek. Ssekabembe abuweeredde mu bimuli bya Bulange kulwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, bw’abadde atikkula bannakyaggwe ne bannakyaddondo oluwalo olusobye mu bukadde 24 ku Lwokuna.
“Omuntu yenna anoonya obusukkulumu oba gavumenti wadde kampuni erina okukola ebintu mu ngeri ey’enjawulo nga bwebikolebwa mu Bwakabaka. Ffe ffenyini mu myaka egy’enjawulo, obukugu, mu buyivu n’enzikiriza n’amawanga ag’enjawulo ffe tulina okukwatagana netukolera wamu nga tufuba entakera okukyuusa eggwanga lino, ” Owek. Ssekabembe bw’agambye.
Ono abantu abasabye okwewaayo bakyuuse embeera gyebabaddemu kuba wadde bagimanyidde naye ate esobola okuba nga si yeesaanyidde okuwangaaliramu.
Minisita Ssekaabembe awadde abayizi amagezi okunywerera ku misomo gyabwe balwane okujigussa nga y’entabiro y’ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.
Omumyuka owokubiri owa Kaggo nga ono yayogedde ku lw’ Abaami b’ Amasaza gano yeebazizza eggombolola ezikiise embuga olw’okumannya obuvunannyizibwa bwabwe eri Nnamulondo nebafaayo okutuukiriza ate era nebajja n’ emiti emito.
Abaami be ggombolola banjudde alipoota ezirambika entambuza ey’emirimu mu bitundu byabwe kyokka nebeebaza Obwakabaka olwokusangawo enteekateeka ezitumbula embeera z’abantu be bakulembera.
Eggombolola ya mumyuka Nakifuma okuva e Kyaggwe ku mulundi guno yenwyedde akendo mu gombolola zino n’obukadde mukaaga .