Minisitule ye by’obulimi n’obulunzi erabudde abalimi ba Vanila obutagezaako kumukungula ng’ekiseera tekinatuuka kubanga kigenda ku batuttira akatale.

Fred Kyakulaga Bwino nga ye Minisita avunanyizibwa ku by’obulimi yagambye nti ennaku entuufu okukungulirako Vanilla zigenda kubeera 7 July 2020 nga agenda kubeera ng’atuuse bulungi okukungula .Minisita Kyakulaga era yalabudde abalimi ba Vanilla okwewala okumukungula nga tannaba kutuuka kubanga kitta omutindo ekituttira akatale ka Vanilla mu ggwanga .

Yalagidde abalondoola ebirime ebifulumizibwa wabweru we ggwanga okwekennenya ennyo bafulumya vanilla nga anaakwatibwa nga amutwala kyokka nga tanatuuka wakuvunaanibwa.