Bulijjo kyogerebwa nti abavubuka by’ebiseera eby’omumaaso. Kino kitegeeza nti weetaago okuluŋŋamya, okubakwata ku Mukono, n’okubateekateeka olw’ebiseera eby’omumaaso. Nga kampuni erengerera ewala mu kugatta ensi eddukira mu misinde, MTN eri mu kifo okulaba ng’eyambako abavubuka okutuukiriza kino ssi eri abakulembeze aba kaakati wabula n’abalijja mu maaso. Somdev Sen, kitunzi wa MTN omukulu atubuulidde engeri gye beŋŋanzemu abavubuka.
Uganda okuba n’omugigi gw’abavubuka bwe gutyo kitegeezaki eri MTN?
Okubeera n’omugigi gw’abavubuka nga be basinga obungi kitegeeza mikisa eri bo ne MTN okutwaliza awamu. Tukkiriza nti buli muntu agwana ekisinga mu nsi eno eya tekinologiya. Abavubuka be basooka okwettanira ebintu bya tekinologoya n’olwekyo ng’abavubuka baba basuubira kinene okusobola okutuukiriza ebigendererwa byabwe. Eri abavubuka, MTN nga munnamukago neeteefuteefu okutuukiriza ebiruubirirwa byabwe.
Abavubuka balina biruubirirwa ki okuva mu MTN?
Abavubuka basuubira MTN okutta nabo omukago n’okuwagira ebyo bye beenyigiramu, okubayunga ku mikwano, okubeera ebiseera byabwe ebikadde n’okubayamba mw’ebyo bye bakola okuzimba n’okunyweza ebiseera byabwe eby’omu maaso.
Nkola ki MTN zeetaddewo okusobola okutuukiriza ebiruubirirwa by’abavubuka?
MTN etegeera abavubuka okuba nga bantu ba njawulo abalina ebiruubirirwa yensonga lwaki twatongoza enkola ya MTN pulse egendereddwamu okutuukirira abavubuka okuva mu bintu eby’enjawulo ebayamba okubeera mu bulamu bwabwe nga bwe babwetaaga. Enkola eno eya pulse eyamba abavubuka okuzuula n’okutuukiriza ebigendererwa byabwe eby’omu maaso.
Ng’oggyeeko enkola eya pulse, bintu ki ebirala MTN by’etaddewo okusobola okuyambako abavubuka?
Newankubadde Covid-19 alina engeri gy’ataataaganyizzaamu, naye nga MTN tujja kugenda mu maaso n’enkola zaffe okusobola okutambula n’ebiruubirirwa by’abavubuka. Mu bino tulinamu ebintu nga Buzz Teenies awards, Pulse Rap Battles ne Hip Hop awards, okukulaakulanya ebyo bye baagala okubeera nga Career Fairs mu masomero ne Open API tech skills programs eziwa abavubuka omukisa mu mbeera eno eya tekinologiya.
Abavubuka mu nsi yattu bamanyiddwa ng’abanguyirwa enkozesa ya tekinologiya. Mwe nga MTN mubayambye mutya okusobola okutuukiriza kino?
Eri ffe, omugaso gw’abavubuka eri eggwanga gusinga ne kw’ebyo bye tubawa. Mu butuufu tugezaako okulaba byonna bye tukola tubikola nga bisobola okuja mu ngatto zaabwe. Tukimanyi nti leero abavubuka bagezi nnyo bw’ogeraageranya ne we twabeerera mu myaka gyabwe y’ensonga lwaki tugezaako okugenda n’ebigendererwa byabwe. Ng’otandikira kun kola yaffe eya pulse, tutaddewo era ne tuzimba emikutu nga Ayoba abavubuka kwe basisinkanira. Ebirowoozo byonna tubitadde mu kuzimba emikutu nga Tidal, GoGames, ne Kibanda Xpress.
Okyogedde bulungi. Nga CMO wa MTN, bubaka ki bw’olina eri abavuvuka b’eggwanga lino?
Nkubiriza abavubuka okuba n’ebirooto ebinene era babeere n’obulamu mu bujjuvu era bajjukire nti okuwangula balina kukola nnyo si kuyita mu makubo ga mankwetu. Nga MTN tussa ekitibwa mu maanyi abavubuka ge bassaamu era tujja kusigala nga tubawagira okusobola okutuukiriza ebiruubiriwa byabwe n’okusobola okuggulawo emikisa olw’ebiseera by’omumaaso ebirungi.