17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

MTN Uganda yaakweyongera okuwagira bannabitone baawano mu kisaawe ky’okuyimba.

Mr Buyondo Saza: Mtn Uganda nga ye Kkampuni ekyasinze okuwagira n’okuvvuggirira abayimbi ba Uganda, yeeyongedde nate okutumbula ebitone ebipya mu kisaawe kya muziki wa Uganda. Omwaka guno, kkampuni eno era eyongedde okussa ensimbi mu bayimbi baawano abawerako omuli Coopy Bly, Mesarch Semakula, Martha Mukisa, Tugende Mukikadde, Madrat ne Chico wamu ne Pallaso.

Okusinziira mu lukiiko lw’abamawulire olwakubidwa ku Golden Tulip mu Kampala, MTN Uganda yalangiridde okussa ensimbi mu bayimbi abawerera ddala mukaaga nga bano bakuganyulwa nnyo mu ttu lyebabeettikkidde.

Bweyabadde ayogera, eyabadde akiikiridde ssenkulu wa MTN Uganda Sylvia Mulinge, nga ono ye Barbra Kiwanuka okuva mu MTN Event and Sponsorship, yagambye nti obuyambi bwe bateeka mu bannabitone ba Uganda, bukola nga bujulizi obulaga nti MTN Uganda eyagala nnyo okutumbula ebitone byabwe. 

Yagambye nti bakkiriza nti okuyimba ky’ekimu kwebyo ebyettanirwa ennyo mu Uganda era baagala okuwa omwagaanya okusobola okuwagira wamu n’okutumbula ennyimba za Uganda nga bayita mu bayimbi wamu n’abanyumirwa ennyimba nga zino. Ono era yategeezezza nti akitegeera nti ennyimba zaawano zeezisinze okwettanirwa ennyo abantu era Uganda yamukisa nti ejjudde abayimbi abalina ebitone nga basobola okukola ennyimba ezinyuma ennyo. 

“Ffe nga aba MTN tuli basanyufu nnyo olw’okuteekawo omwagaanya ogusobozesa Bannayuganda okunyumirwa ennyimba ennuungi nga zino. Nga ekitundu ku tttu lyetwettise, abawagizi nabo baakuwangula ensimbi za Uganda 100,000/ ne tiketi 2 ezinaabayingiza mu kivvulu ky’omuyimbi ategekeddwa, bwa naawanula akayimba konna ate neyeekwata akatambi k’amazina oba ng’ayimba ng’akozesa MTNCallerTunez, olwo naateeka katambi ke ku mikutu gya soso midiya oba giyite mugatta bantu nga Facebook, TikTok, Twitter, ne Instagram, era tukkiriza nti nga tuli kitole, tusobola okusingawo nga tuyamba abayimbi okuzimba obusobozi bwabwe” bwatyo Kiwanuka bwe yakkaatirizza. Ono era agamba nti baagala nnyo okukunga Bannayuganda bonna, okubeegattako nga bawagira bannabitone kubanga bwebabeera ekitole, teli asobola kubalemesa era nga kino kijja kuyamba nnyo okukuza ebitone mu Uganda naddala mu kisaawe ky’okuyimba.

Mr Buyondo Saza: Omutwe correction : okuwagira

Related posts

Kyagulanyi agobye Bigirwa ku bukulu mu kibiina kya NUP.

OUR REPORTER

Eyabba ssente ku akawunti  ya kaasitoma mu DTB asindikiddwa e Luzira.

OUR REPORTER

Ekivvulu kya Spice Diana kyengedde

vega

Leave a Comment