17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
EssanyuFeatured

 Mu June Kabaka wa Belgium ne Nnaabakyala baakukyalako e Dr. Congo.

Kabaka wa Bubirigi (Belgium) Philippe ne mukyala we Mathilde baakukyalako mu nsi y’oku muliraano eya Democratic Republic of Congo mu June w’omwaka guno ku bugenyi obutongole.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa omuyambi wa Pulezidenti, Guylain Nyembo, olukyala luno lwakubeerawo okuva ku Lwokubiri nga 7 okutuusa ku Mmande nga 13 June.

Abakulu bano baakuwerekerwako baminisita mu Gavumenti ya Bubirigi nga baakukyalako mu kibuga ekikulu, Kinshasa, badde e Lubumbashi n’e Bukavu era yategeezezza nti olukyala luno lwali lwakubaawo mu March 2022, kyokka ne lusazibwamu olwa Russia okulumba Ukraine.

Mu June wa 2020, Kabaka Philippe yavaayo n’alaga okunyolwa olw’ebikolwa by’ekikabbulu n’obwannakyemalira obukulembeze bw’eggwanga lya Bubirigi bye baatuusa ku bannansi ba Congo mu bbanga lye baakulembera ensi eyo nga tebannagiddiza bwetwaze.

Guno gwe gwali omulundi ogusoose omufuzi w’eggwanga eryo okwatula mu lwatu ng’alaga nti yennyamira olw’ebintu ebyakolebwa ku b’eggwanga eryo mu kiseera we baabakulemberera.

Bubirigi yafuga eggwanga lino erisangibwa mu masekkati ga Afrika mu kyasa ekya 19 okutuusa bannansi lwe baalwanirira obwetwaze okukkakkana ng’Ababirigi batendewaliddwa ne babawa obwetwaze mu 1960 era kijjukirwa ndi abantu bukadde na bukadde battibwa wansi w’obukulembeze bw’abasibira mu bbwa Ababirigi.

Related posts

Obujulizi bweyongedde obuluma Kirabo okutta muganzi we Mirembe.

OUR REPORTER

Omusawo atondose n’afa ng’ali ku mulimu n’asattiza bakozi banne.

OUR REPORTER

Yisirayiri eyongedde okukuba Gaza.

OUR REPORTER

Leave a Comment