Omukulembeze wékibiina kya Alliance For National Transformation Gen Mugisha Muntu ayagala police yeddiza obuvunaanyizibwa bw’okulondoola omuvubuka Eric Mwesigwa eyagambye nti abakulembeze ba NUP baamutulugunya nti nga bamusuubizza okumuwa obukadde bwa shilling 50.
Eric Mwesigwa yasooka kulabikako ku kitebe kya NUP n’ategeeza nti abakuuma ddembe bebaamuwamba nebamutulugunya saako okumwokya paasi.

Wabula yazeemu okulabikako ku kitebe ky’amagye e Mbuya, n’alumiriza abakulembeze ba NUP okukola olukwe lw’okumwokya paasi alumirize government nti etulugunya abantu.
Mu lukungaana lwabanna mawulire olutudde ku kitebe kyékibiina kya ANT e Bukoto,Gen Mugisha Muntu agambye nti ekyakoleddwa omuvubuka ono kyongera kukonzibya nteekateeka y’okulwanyisa abantu abatulugunya bannabwe.
Mugisha Muntu yewunyiza okulaba amagye mu nsonga zómuvubuka ono, ate ng’ensonga eno yabadde esobola okukolebwako police.
Agambye nti omuvubuka ono yandibadde yeyambisibwa police okulondoola n’okukwata beyagambye nti bebaamutulugunya.