Omukubiriza w’ Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule asabye abantu ba Kabaka bulijjo okujjumbira enteekateeka ez’enjawulo ezireetebwa okubakulaakulanya bweba baagala okukyuusa obulamu bwabwe ne Buganda edde ku ntikko.
Okusaba kuno Owek. Mugumbule yakuweeredde ku mukolo gw’okutikkula Oluwalo okuva mu Bannabuddu oguyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.
Owek.Mugumbule yabakuutidde bulijjo okufaayo okutuukiriza obuvunannyizibwa bwabwe eri Beene n’Obwakabaka kyagambye nti kyakwongera okukuuma n’okunyweza Nnamulondo n’okutwala Buganda mu maaso.
Ye Ssaabawolereza wa gavumenti ya Buganda era Minisita wa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Christopher Bwanika yakubiriza abaami ba Ssaabasajja okuba ekyokulabirako eri abantu be bakulembera okukuuma ekitibwa kya Nnamulondo.
Bo Abaami b’eggombolola ezikiise embuga baalaze ebimu ku bibasomooza omuli ekibbattaka awamu n’obwavu obuli mu bitundu byabwe wabula nebawera okusigala nga baweereza Nnamulondo.
Abamu ku bakulembeze mu gavumenti eyawakati abeetabye mu nteekateeka eno, baweze okwongera okunyweza enkolagana nObwakabako kyoka nebasaba gavumenti okusoosowaza eby’obulimi kubanga mpagi nnene ey’okuleetawo enkulaakulana.