22.4 C
Los Angeles
June 3, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Muhwezi akuutidde abayizi okweggyamu obunafu n’obugayaavu.

Bino byogeddwa amyuka omukulu wa ssettendekero wa Makerere University Business School (MUBS) ,polof  Moses Muhwezi  mu munisipaali y’e Nakawa bw’abadde aggalawo wiiki y’ebyobusuubuzi mu ssettendekero eno .

Wiiki eno etegekebwa buli mwaka era yunivasite ereetera abayizi bakitunzi ab’enjawulo okwetooloola eggwanga okubayitiramu ku butya emirimu bwe gitambula nga bavudde mu ssomero .

Polof. Muhwezi agamba leero abantu bangi tebalina ndagiriro ya mirimu gyabwe wabula batuusa obuweereza bwabwe bulungi eri ababwetaaga ssinga oba obatuukiridde. Yagambye nti kino bakikolera ku mikutu emigattabantu ekiraga nti balwanirira ebyo bye beetaaga.

Yakuutidde abayizi okweggyamu obunafu n’obugayaavu. Ategeezezza abayizi nti akatale akali mu Kampala katono nnyo wabula abaleetamu eby’okutundiramu basinga abaguzi ne kibaleetera okulowooza nti emirimu gyabula ekitali kituufu .

Asabye abayizi abali mu mwaka ogusembayo nga basoma okukomya okulowooza nti akatale kali mu Kampala n’emiriraano yokka wabula ne mu byalo naye olw’okuba tewali akatwalayo , ye nsonga lwaki embeera y’ekyalo eraga nga awatali katale gye bayinza kuggya ssente naye nga akatale gyekali.

Frank Muthusi okuva mu Uganda Advertising Association agamba omuyizi asoma obwakitunzi era ng’ateekateeka okuba kitunzi  naye nga tali ku mikutu gino , ajja kusoomoozebwa okukola kuba obwakitunzi bitandikira ku mikutu gino mu ggwanga leero .

Related posts

BA CDO BASATU BASINDIKIBWA KU ALIMANDA MU KKOMERA

OUR REPORTER

FORTEBET: THANK YOU KIRYANDONGO, BWEYALE, KIGUMBA, KARUMA

OUR REPORTER

Omulambo gwa Babirye eyafiira  e Turkey gukomezebwawo.

OUR REPORTER

Leave a Comment