22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Mukomye okulima emmere ey’okukkusa embuto zammwe zokka- Museveni.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye abantu mu ggwanga okukomya okulima emmere ey’okukkusa embuto zaabwe wabula bateekemu ensimbi balime ey’okutunda olwo bibayambeko okweggya mu bwavu.

Bino bibadde mu bubaka bw’atisse Omumyuka we Jessica Alupo mu kuggulawo Eklesia ey’Abasodokisi e Tangiriza mu ssaza ly’elwemiyaga mu disitulikiti y’e Sembabule.

Omukolo gw’okutongoza eklesia ya St George and Andrew eLwemiyaga mu Disitulikiti y’eSembabule gutandise ne Missa ekulembeddwamu Metropolitan Chariton Ilunga okuva mu ggwanga lya congo ng’ono akiikiridde Paapa ng’ayambibwako Archbishop wa Kampala Metropolitan Jero Nymos Muzei saako abasumba abalala mukaaga okuva ku lukalu lwa Africa.

Mu bubaka bwe  Metropolitan Chariton Ilunga asiimye Gavumenti n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olw’okukwatirako Eklesia y’Abasodokisi n’okutambulira awamu nabo.

Archbishop wa Kampala Metropolitan Jeronymos Muzeeyi alaze obwennyamivu olw’ebikolwa eby’obutabanguko n’okutta abantu n’emmundu mu nsi nga Sudan,  Ukrain, Russia n’ewalala ebitalaga ddembe n’asaba abantu baayo okubikomya baagalane.

Bbo abatuuze nga bakulembeddwamu bassentebe b’amagombolola okuli Rwembundu Herbert balaze obulumi bwe bayitamu olw’enguudo embi naddala oluyita eLwemiyaga paka Mubende oluluddewo okukolebwa kolaasi ne basaba bayambibwe.

Omubaka akiikirira Lwemiyaga mu Palamenti Theodore Sekikubo ayogedde ku luguudo luno nti baamala dda okuliyirira abantu kyokka luruddewo okukolebwa ne basaba Pulezidenti aveeyo ku nsonga eno kuba abantu bali mu bulumi.

Omukolo guno gwetabiddwaako ne Minisita omubeezi ow’Ebyobulamu owa guno na guli Anifa Kawooya,  n’ababaka ba Palamenti okuva mu bitundu ebirala nga beetabye mu kusonda ensimbi okuzimba etterekero ly’ebikozesebwa mu bya Ssaayansi ( Laboratory) ku ssomero lya St Luke eriri ku musingi gwa Oryhodox e Lwemiyaga nga basonze obukadde obusoba mu 70.

Related posts

Fortebet lights up Nakasongola, luweero with priceless ghifts.

OUR REPORTER

Abantu bakubye  Gavumenti mu Kkooti .

OUR REPORTER

Omwoleso gwa CBS PEWOSA gutandika nga 5 okutuuka nga 11 April.

OUR REPORTER

Leave a Comment