MUKYALA wa Kakooza Mutale afudde kibwatukira n’aleka aba famire n’emikwano mu kiyongobero.
Louise Nakawunde Mutale 70, omutuuze w’e Ssekannyonyi mu muluka gw’e Mpereerwe mu munisipaali y’e Kawempe yakubiddwa puleesa ku Mmande eyamuviiriddeko okufa, Nakawunde abadde musawo ng’abadde n’eddwaaliro erya Nang’anda Clinic e Ssekannyonyi ng’abadde Mukristaayo mu kkanisa ya S.t Luke Church Of Uganda e Mpereerwe.
Victoria Nabasumba 42, muwala wa Kakooza Mutale omukulu yategeezezza nti nnyaabwe yabadde mukyala mukulu ng’abadde n’abaana basatu.