24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireEditor's PicksFeatured

Mulyanyama alabudde bannannyini ttaka ku luguudo olupya

Meeya w’e Makindye Kasirye Nganda Mulyanyama asisinkanye bannanyini ttaka ku luguudo Namasole road n’abalabula obutalemesa UNRA kuzimba luguudo kubanga beebagenda okufunamu okusinga.

Yabagambye nti UNRA sinetegefu kuliyirira batuuze olwa fuuti z’ettaka n”ebikomera byegenda okumanya mu kugaziya oluguudo okuva ku balakisi okukirira ku Ntebe road okugyako abo abababeera bonooneddwa amayumba.

Mu nsisinkano eno eyabadde ku Calendar hotel, meeya yagambye nti oluguudo luno okugenda okusibwako ebitaala mu masanganziira agava e Kibuye nokwambuka ku Calendar hotel balugase ku Busabaala project olwobutayagala kululeka mu mbeera mbi.

“Meeya ne banne twasabye bannaffe baleme kukola Salaama road ne Busabaala road ate luno lusigale nga lubi n’olwekyo tuweeyo ettaka tufune enkulakulana” bwatyo bwe yategeezezza.

Kyokka yagambye nti KCCA kyeyinza okubataasa kwe kubakkiriza okusitula ebizimbe ku ttaka lyabwe ku mu kiseera okuzimba oluguudo nga kugenda mu maaso nokubasonyiwa emisolo.

Yagambye nti okuzimba enguudo kugenda kwongera enkulakulana nti bwe banalemesa UNRA nga balowooleza mu kusasulwa beebagenda okufiirwa.

Okusooka meeya yategeezezza nti abantu bafube okusasula emisolo gyebizimbe nokusasula obwa Nanyini kubanga kibayamba okunyweza obwanannyini.

Abamu ku bannanyini ttaka basabye abakugu ba UNRA ne KCCA baddemu okupima oluguudo nga nabo webaali obutabayonoonera nyo byabwe.

Bakuddamu okusisinkana okutaanya okusika omuguwa okukyaliwo.

Related posts

Nursing schools should construct health facilities,Dr. Wakida.

OUR REPORTER

GULU PUNTERS WIN FORTEBET-ALEX MUHANGI SOCCER TOUR

OUR REPORTER

Abasawo b’ebyalo baweereddwa obugaali okubayambako mu byentambula.

OUR REPORTER

Leave a Comment