MUNNANSI wa Somalia akola nga Maneja w’ekizimbe kya ISB mu kisenyi avunaaniddwa ogw’okubba ebintu by’omupangisa we ebibalirirwamu obukadde 17.
Hassan Muhammad 32, mutuuze wa Kasaato Zzooni mu Kisenyi e Mengo y’asimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo omulamuzi Adams Byarugaba n’amusomera omusango gw’obubbi.

Kigambibwa nti mu July wa 2022 ku kizimbe kya ISB mu kisenyi, ono yabba ebintu bya Hassan Hussein nga yali
mupangisa ku kizimbe kino omwali ebintu by’omudaala, entebe, Ffiriigi, eby’okwewunda (cosmetics) nga bibalirirwamu obukadde 17 n’emitwalo 56.
Omusango yagwegaanyi wabula ng’ayita mu Isaac Tumusiime Puliida we, yasabye okweyimirirwa era Omulamuzi n’amukkiriza ku bukadde 10 ezitali zaabuliwo nga mubazze okumweyimirira mwe mwabadde ne ssente w’ekitundu Kasaato Zzooni Sande Kiwana.