17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireFeatured

 Munnayuganda omusuubuzi e South Africa yafumise mukazi we n’amuta.

Munnayuganda omusuubuzi e South Africa kigamibwa nti  obusungu bumulinnye n’akakkana ku mukazi we n’amufumita ebiso ebimuviiriddeko okufa.

Poliisi y’e Pretoria ekutte Charles Lutaaya ng’emuteebereza okufumita mukazi we Hariss Nassanga n’amutta.

Poliisi ye Pretoria esanze ensiitaano ey’amannyi mu maka g’ababiri bano mu kibuga Pretoria ekiraga nti waasoose kubaawo okulwanagana okw’amaanyi wakati waabwe bombi.

Omulangira Jjuuko, omu ku Bannayuganda abawangaalira mu kibuga kino ategeezeza nti Lutaaya yasitudde olutalo ne mukyala we mu matumbibudde n’afumita Nassanga ebiso ebimusse.

Agambye nti omwana waabwe ow’emyaka 14 Naye alumiziddwa wakati mu ku lwanagana kuno. Poliisi eggyeewo omulambo gwa Nassanga n’egutwala mu ddwaaliro e Pretoria. Bukedde abadde tannamannya kituufu Nassanga gy’azaalwa wano e Uganda

Related posts

ABASIRAAMU BE KUMI BAGOBYE DISTRICT KAZHI LWA NSIMBI ZA UNRA NE BIGAMBIBWA OKUTUNDA ETTAKA LY`OMUZIKITI

OUR REPORTER

Makerere University yaakwongera amaanyi mu kusomesa ennimi ennansi.

OUR REPORTER

KITALO! Br.Fr.Annattooli Waswa afudde.

OUR REPORTER

Leave a Comment