Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni azzeemu nalagira ab’ebyokwerinda okuzza emisanvu ku nguudo zi Mwasanjala eziyingira n’okufuluma ebibuga eby’enjawulo wonna okwetoloola eggwanga.
Mu mwezi gwa October, Pulezidenti Museveni yalagira emisanvu gyonna egyali giteekeddwa ku kkubo okugibwako oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya okuva mu bannabizineensi, bamusigansimbi n’abasuubuzi ku kasoobo kebasanga mu kkubo nga kava ku misanvu gino.
Oluvannyuma lwe myezi ebiri nga ekiragiro kiyise ate Pulezidenti Museveni akkiriza abapoliisi okuzzaawo emisanvu gino.
“ Ssaabaduumizi wa poliisi alagidde abakulira ebikwekweto okuvaawo emisanvu. Kino kitandikiddewo era essira tulitadde ku bifo ebisinga okuba eby’obulabe nebyo ebisingamu obubenje,” Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga bw’ategeezezza.
Okusinziira ku Enanga, emisanvu gino bwegyagyibwao, walabikawo omuwaatwa olwo abazzi b’emisango nebatandika okwegiriisa n’okukusa ebintu omuli n’ebiragalalagala.
Ekiragiro kya Ochola kiragira abapoliisi okufuba okulaba nti enguudo zi Mwasanjala ziriko obukuumi era bakozese emisanvu gino okukwata abazzi b’emisango awamu n’abantu abamenya amateeka g’ebidduka.
Ono asabye abantu bonna okugondera poliisi era bayimirire singa babeera bakubiddwa omukono kuba abapoliisi baweereddwa ebiragiro okwerwanako singa babeera balumbiddwa.
Enanga agamba nti emisanvu gino gigenda kuyambibwako emmotoka za poliisi ennawunyi awamu n’ abasajja babwe abateereddwa ku bulindaala okudduukirira embeera yonna ebeera eguddewo.
Afande Enanga akakasizza nti bino byonna babikoze balungamizibwa ekiragiro ky’ omukulembeze w’eggwanga nasaba abantu okukolagana obulungi ne poliisi kuba eriwo kuyambo bo.