Pulezidenti Yoweri Museveni ng’ayita mu mumyukawe Jessica Alupo akubagizza abaafiiriddwa abantu baabwe ku kifo kya Freedom City obukadde butaano bubayambeko mu nteekateeka z’okuziika.
Museveni era alagidde Poliisi ekole alipoota eraga ekyaviiriddeko abantu bano okufa n’engeri gye baafuddemu.
Alupu yategeezezza nti abantu babiri be baakakwatibwa wabula nga waliwo abalala abakyanoonyezebwa.