21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Museveni asabye ab’amasomero okussa essira ku masomo ga ssaayansi.

Ssinga amasomero galung’agamya abayizi ne bettanira amasomo ga ssaayansi, tujja kweggya mu nvuba y’okusabiriza nga tuyina abaana abasobola okuyiiya ebyandivudde ebweru ne tubyekolera wano 

Bino bibadde mu bubaka bwe yatisse minisita Diana Mutasingwa eyamukiikiridde ku mukolo ng’essomero lya St.Tereza Gayaza Girls mu Tawuni kkanso ya Kasangati lijaguza okuweza emyaka 100 bukyanga litandikibwaawo.

Omukolo gwatandise n’ekitambiro kya mmisa eyakulembeddwa omubaka wa Papa eyawummula, Ssaabasumba Augustine Kasujja ng’ayambibwako akulira ekifo kya Gayaza era Omubaka wa Ssaabasumba mu Wakiso, Faaza Jude Makanga ne bafaaza abalala.

Museveni yeebazizza abaddukanya essomero lino olw’okulafuubana emyaka 100 nga bababangula abaana n’abagaaliza emirala 100 nga basigadde ku mulamwa.

Ssaabasumba yeebazizza n’okutendereza omulimu omunene ogukolebwa ku ssomero naddala nga bateekateeka bamaama be yagambye nti ye nsibuko y’empisa z’obuntubulamu kuba be baddukanya amaka gye zitandikira.

Akulira essomero lino, Sisita Robbinah Nantinda yeebaziza abazadde olw’enkolagana n’obuwagizi ssaako bakozi banne mu myaka gino era ne yeebaza abatandisi.

Pulezidenti yawaddeyo obukadde 20 okudduukirira omulimu gw’okuzimba ekizimbe ky’ekijjukizo ekigenda okuwemmenta akawumbi kamu n’obukadde 600 nga kiriko ebibiina ne offiisi era nga Ssaabasumba Kasujja yakisimbyeko ejjinja ku lwa Ssaabasumba wa Kampala.

Omukolo gwetabiddwako omubaka wa Wakiso mu Palamenti, Betty Naluyima eyeeyamye emitwalo 50, ssentebe wa Wakiso Maria Lwanga Bwanika, mmeeya wa Kasangati, Tom Muwonge Abasisita n’abazadde saako abaasomerako mu ssomero lino.

Related posts

Abantu 2 bafiridde mu Kabenje akagudde mu kibuga Kampala.

OUR REPORTER

ZUULA N’OMUKUGU KUBATALYA NYAMA

OUR REPORTER

Owek. Mayiga atongozza ekitundu ky’omwaka ‘B ‘eky’ Emmwaanyi Terimba.

OUR REPORTER

Leave a Comment