17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Museveni ayogedde ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku bajaasi ba UPDF e Somalia.

PULEZIDENTI Museveni ayogedde ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku bajaasi ba UPDF e Somalia n’agamba nti waliwo ensobi ezaakoleddwa era bataddewo akakiiko kanoonyereze bazuule ewaavudde obuzibu.

Museveni yatadde ekiwandiiko ku mukutu gwe ogwa Twitter n’ategeeza nti eggye lya UPDF eriri mu kukuuma emirembe e Somalia baafunye ekyekango ku Lwokutaano
ku makya nga bukya ku ssaawa 11:30.

Abatujju ba Al-Shabaab, baalumbye abajaasi ba UPDF mu bitundu by’e Bulo-Mareer ne babaako ebyokulwanyisa bye baayonoonye mu kulwana okwafiiriddemu n’abajaasi.

Mu kiseera ekyo abajaasi baabadde balina ebyokulwanyisa ebitali bya maanyi nnyo nga ttanka bbiri, emizinga egikuba ennyonyi bbiri wamu n’emmundu ekika kya sabasaba ekika kya 107mm Katyusa.

Abatujju baalumbidde mu kibinja ky’abantu 800 ekyatiisizza abajaasi ba UPDF ne badduka okugenda mu Beesi endala eyeesudde kiromita munaana mu kifo ky’okulwanyisa abalabe. Kino kyaviiriddeko ebyokulwanyisa byabwe okusaanyizibwawo.

Okutya kuno Pulezidenti agamba kwabadde tekwetaagisa kuba baabadde bamaze okusaanyaawo emmotoka z’abalabe ssatu ezaabaddeko ebyokulwanyisa.

Embeera eno yaviiriddeko abatujju okwetulisizaako bbomu. Ekikolwa kino Museveni yagambye tekijja kuterebula Uganda kuggya magye ga UPDF e Somalia gye gabadde gakuuma emirembe okuva mu 2007.

Ekyewuunyisa mu kiseera ekyo ebyuma ebikessi ebikettera mu bwengula byabadde biraba buli ekigenda mu maaso era nga bawa ebiragiro ku kirina okukolebwa.

Omuduumizi w’eggye lya UPDF yataddewo akakiiko kanoonyereze byonna ebyabaddewo n’okumanya ebikwata ku baafunye obuzibu.

Museveni yasaasidde ffamire z’abaafi iriddwa abantu baabwe mu bulumbaganyi buno n’agamba nti bagenda kwongera okulwanyisa abatujju n’asuubiza nti kye baakoze balina okukyejjusa.

Ebyabaddewo Pulezidenti yagambye nti birina okuyigiriza abasigaddewo nti okugenda e Somalia tebaliiwo kufuna busiimo kuva mu kibiina ky’amawanga amagatte, wabula
babeera bagenze kulwana.

“Musango omuntu yenna okuweereza omuserikale mu ddwaaniro nga tasaanidde oba
nga teyateekebwateekebwa bulungi. Ebisingawo bijja kufunibwa ng’akakiiko akanoonyereza kamaze okufulumya lipooti,” Museveni bwe yagambye.

Ku bugenyi Pulezidenti bwe yabaddeko mu bitundu by’e Masaka ne ku bizinga bye Kalangala, Pulezidenti yasanyuse olw’okusanga abaayo nga beenyigidde mu kulima emmwaanyi, ebitooke, ebinazi n’okulunda ente z’amata.

Related posts

Abantu 2 bafumitiddwa ebiso e Mukono omu n’afa.

OUR REPORTER

KITALO! Abantu 6 bafiiridde mu kabenje e Njeru

OUR REPORTER

Eggye lya UPDF awamu ne poliisi banokoddwayo nate  nga abasinze okulinyirira eddembe ly’obuntu.

OUR REPORTER

Leave a Comment