23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Museveni yatadde omukono ku ndagaano eziwera okwogela ekolagana y’amawanga gombi.

OBUGENYI Pulezidenti Museveni bwe yabaddeko e South Africa, yatadde omukono ku ndagaano eziwera ezitumbula enkolagana y’amawanga gombi.
Ku bugenyi buno Museveni abadde yayitibwa mukulu munne owa South Africa, Cyril Ramaphosa okwongera okunyweza enkwatagana y’amawanga gombi. Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa kyalaze nti Pulezidenti Museveni yagenda ne ttiimu ey’amaanyi
okwali baminisita; ow’ensonga z’ebweru, minisita w’ebyensimbi, minisitule y’ebyobugagga eby’omu ttaka, ey’ebyobulimi, ey’obusuubuzi, eby’amakolero
n’ebyobulambuzi. Uganda yatandika enkolagana entongole ne South Africa nga
June 24, 1999 n’endagaano endala mu July wa 2022.
zimu ku ndagaano ezaateereddwaako emikono kwabaddeko ekwata ku kutumbula
embeera z’abakyala abavubuka n’abaliko obulemu. Enkolagana mu by’obulambuzi, ekwata ku by’entambula, eby’empuliziganya n’ebya tekinologiya.
Ramaphosa yagambye nti wadde ng’enkolagana y’ebyobusuubuzi yeeyongedde
naye kyamwennyamizza okulaba ng’omuwendo gw’abasuubuzi b’e South Africa abakolera mu Uganda gukyali mutono. Abakulembeze bakkaanyizza okuggyawo
omuziziko ogunaazuulwa nga gwe gulemesa abasuubuzi.
Kyokka yasiimye Pulezidenti Museveni olw’okuwagira kkampuni ya Eskom mu Uganda okuva mu 2003 era nga bakoze bulungi emirimu okumala emyaka 20.
Pulezidenti Museveni yabagumizza nti Eskom bw’enaaba ekomekkereza  emirimu gyayo nga March 31, 2023 bajja kukakasa ng’ebintu byabwe byonna biddayo bulungi

e South Africa.
Abakulembeze b’amawanga gombi baasazeewo okwongera okukolagana nga bayita mu
mikago omwegattira amawanga gombi nga African Continental Free Trade Area (AFCFTA), Tripartite Free Trade Area (TFTA) Common Market for East and
Southern Africa (COMESA).
Bapulezidenti bombi beetabye mu lukung’aana olwetabiddwaamu Bannanyuganda n’ab’e South Africa okuva nga February 27 okutuuka 28, 2023. Abeetabye mu lukiiko bonna baaweereddwa omukisa ogukubaganya ebirowoozo.
Obutabanguko obuli mu mawanga ga Democratic Republic Congo (DRC), Ethiopia, ne
South Sudan bwayogeddwaako.
Baatenderezza omulimu ogukoleddwa amagye g’omukago gwa Southern African Development Community (SADC) ne East African Community (EAC) mu kuzza emirembe mu bitundu ebyo.
Ekyasalibwawo akakiiko akakola ku by’okwerinda nga balagira ebibiina by’abayeekera
okuli; M23, Allied Democratic Forces (ADF) ne Democratic Forces for the Liberation of Rwanda (FDLR), okussa wansi ebyokulwanyisa era bave mu DR Congo.
Abakulembeze b’amawanga gombi baalaze nga bwe bali obumu n’abantu b’e Palastine era ne basemba obutakkaanya obuliwo bumalibwewo mu mirembe
nga bayambibwako ebitongole eby’enjawulo.
Ku lutalo wakati wa Ukraine ne Russia baasembye wabeerewo enteeseganya.

Related posts

Minisitule y’ebyobulamu esabye banaUganda okukwatira awamu okulwanyisa obuli bwenguzi.

OUR REPORTER

Kitalo! Abafamire 5 bafiiridde mu muliro e Bukasa.

OUR REPORTER

Abasawo b’ebyalo baweereddwa obugaali okubayambako mu byentambula.

OUR REPORTER

Leave a Comment