24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Mutubulire omuntu waffe ggwe mwawamba gyaali

Aba famire ya Kanaatta Muhamad  eyawambibwa mu December wa 2020 abantu abaali mu byambalo amagye okuva mumakage kukyaalo Walusubi ekisangibwa mu ggombolola ye’Naama mu ditulikiti ye’Mukono bali mu maziga oluvanyuma lwe emyezi okwetolola kat giweze musanvu nga omutuwabwe talabikako

Kigambibwa nti mukiro ekya keesa nga 23 December 2020 Kanaata yalumbibwa bakwaata Mundu abaali tebasalika musale nebamuwamba era natwalibwa mukifo ekitategelekeka nga no okutuusa kati talabika nga.

Kanatta yali alina abakazi baana  nga buli omu alina abaana abasoba mu baana nga kwotade ne maama we naye ggweyali alabilira, bano batubulide engeri bba wabwe gye yawambibwamu bakwatta mundu. “Zaali sawa 9 ogwe ekiro abasajja betutategera nga bali mubyambalo bya amagye nebamutwaala.” Madina mukazi wa  Kanaatta  bwatyo bwe yategezezza.

abamu ku bakyala n’abaana ba kanaata munaku

“kati giweze emyezi musanvu tetumanyi obanga gyaali mulamu oba yafa, gavumenti bweba emulina nga mulamu emute kubanga tetumanyi musango gwemuvunana”. Bwatyo Nabwiire omu kubakyaala be  bawategezezza.

Bano balajanide gavumenti bweba emanyi amayitire go omuntu wabwe bwaba mulamu bamutwaale mukotti ate bwaba mufu wakiri babalagilire gyebasula wakili banaziika amagumba nebagumiira kwekyo.

Bakazzi ba Kanaatta ababadde mumaziga bategezezza nti embeera ebabigiride nga mukisera kino tebakyasobola kulabilira baana kubanga tebalina mirimu  atenga bebalina okubeezawo famire zabwe sako ne maama wabwe atakyesola kati

Maama wa Kanaatta  Nabanjja Hanifah atunyonyode obulumi bwalimu oluvanyuma lwo mwaana we okubuzibwawo nti kubanga ono yabadde amulabilira wamu nokuyimirizawo amaaka ge ye kyatasobola.

Kanaata yo omu kubawagizi ba Nup 20  mu disitulikiti ye eMukono  mubisera byo okulonda nga kubano 17  bazulibwa nga basulidwa mubitundu bye eggwanga ebitali bimu nga  bali mumbeera mbi ante omu nasangibwa mukibira Ekasaayi Mukono nga atiddwa nate abalala ababiri okuli ne Kanaata Muhamad tebalabikanga.

Abakulembeze bogedde

Abakulembeze nga bakulembedwamu  ssentebe we gombolola ye Nama Isabirye John Bosco  basabye  gavumenti okutwala kanaatta mukotti avunanibwe oba okumudiza abengaanda bweba nga ye mulina oba oyo eyamutwala amukomyewo kubanga kanaatta yaleka famire ennene eyetaga okulabilira.

Related posts

Ababaka ba parliament ya EALA balayizibwa.

OUR REPORTER

MTN reaffirms commitment to support health sector in celebration of World Health day.

OUR REPORTER

Ab’amakomera bannyonyodde -Minister Kitutu tanazira mmere.

OUR REPORTER

Leave a Comment