Katukozese omukisa okwongera okunnyonnyola abantu, si be Mutungo bokka, basobole okumanya amateeka agamu agafuga ettaka kubanga emisango egisinga okugulumbya ekitongole ekiramuzi gya ttaka. Ettaka Nnyaffe kubanga, kwe tulima ,kwe tuzimba amayumba aga bizinensi, ggoloofa, embiri etc . Era wano gavumenti tetuginenya anti n’omugezi awubwa naye tugisaba wamu ne Palamenti basseewo etteeka erirambika ekkomo ku kiseera omusango ogwettaka kye gulina okumala mu kkooti.Abaganda bagamba nti ‘ Anaatuma omukulu tamagamaga….. , nolugero olulala olugamba nti, Eyeesitukidde tanywa matabangufu ……”, wano njagala musomere ebbaluwa mu bbaasa mumanye ani gwensaba kino. Ssebo Oweekitiibwa Pulezidenti ssitumye nneesitukidde – obubaka buno bubwo. Abantu bakutunuulidde okukola ku nsonga eno kubanga emisango gy’ettaka gimala emyaka mu kkooti, era abantu abakadde bayinza obutamalako n’abagulirizi okuba nga tebakyaliwo olwo omubbi n’atwala kiwedde naleka abatuufu nga bakaaba. Tudde ku tteeka erisinga okulumya bannanyini ttaka, kyokka ku ssaawa yeemu eriyamba bannanyini ttaka singa wabeewo bannakigwanyizi abaagala okulikkwakkulako.Obukodyo bw’ababbi b’ettaka bungi era bannanyini ttaka ewatali kufa ku bunene bwalyo mulina olina okwerwanako nga:1. Olambula ettaka buli kadde oba okussaawo alikuumakuuma.2. Okugenda mu ofiisi yettaka buli lw’ofuna akadde okukebera ku kyapa tebanakingirira kubanga oyinza okuba n’ekyapa mu nnyumba, naye nga mu Lands baakikolerako dda ekyapa ekirala . Mutera okulaba mu mawulire nga balooya balanze Caveat Emptor mu mawulire nga balabula abantu obutakwata ku ttaka eryo era nolikwatako oyinza okukifuuwa ng’okizza munda Njagala okumanyisa abantu nti Caveat oba envumbo kiri mu tteeka erifuga okuwandiisa ettaka Uganda eriyitibwa Registration of cTitles Act (RTA) .Etteeka lino , mu mateeka agafuga ettaka litwalibwa nga Bayibuli y’amateeka g’ettaka kubanga amateeka g’ettaka gonna galina kugulumiza tteeka lino erya RTA.Caveat eyinza okukola obulungi ne kiyamba nnannyini ttaka mu bwangu oba okumulumya singa ekozeseddwa mu mutima omubi, mu bukumpanya , mu bujjukujju .Edda Caveat nga tessibwako nnannyini ttaka, naye zino olwokuba abantu beesomye okunyaga ettaka lya bannaabwe, nannyini ttaka aweebwa amagezi okussa Caveat ku ttaka lye ngagezaako okulikuuma.Omuntu yenna okussa Caveat ku ttaka ateekwa okuba ng’alina mu mateeka, Caveatable interest, so ssi buli omu nga bwekiri ennaku zino ng’oli yeekobanye n’abakozi ba gavumenti mu kitongole kye ttaka.Caveat etyoboddwan’okuyisibwamu olugaayu naddala ojja kukiraba wano ku ttaka ly’e Mutungo. Bano abaana ba Mutesa II bassa Caveat ku ttaka ly’omusajja nga tebalina Caveatable interest nga bwe mujja okulaba wansi anti abantu be bandivunaanye babaleka ne bayiikiriza dokita mu kkobaane wakati wabaana ba Muteesa okuyamba Mmengo okulemezza envumbo ku ttaka lye ng’ate bamanyi nti ettaka yaligula mu bbanka nga ligenda kutundibwa ku nnyondo era kino Wasajja yakiwaako obujulizi mu kakiiko ka Bamugemereire nti yagenda mu Barclays bank nazuula ng’ettaka Dokita yaligula mu 1977 so 1968 oba 1978 .Ettaka lye bassaako envumbo lisangibwa ku Kyaddondo Block 237 okuli Plots nnyingi ezenjawulo ezimu kw’ezo abe Mmengo kwali baali bagala Dr. Kasasa abaweeko kyokka nagaana .Dr. Kasasa yali muguzi wakusatu yaligula mu Banka ya Barclays gye lyali lisingiddwa aba Kampuni ya Lake View Properties abaligula ku muguzi eyasooka Paul Kintu Kwemalamala eyaligula ku Ssekabaka Mutesa II eyalimuguza mu 1968 ngayita mu mwannyina Mpologoma gwe yawa powers of attonery n’olwekyo envumbo ku ttaka Wasajja yagissaako bukyamu kubanga tebaalina nsonga mu mateeka kye bayita Caveatable interest.Bbo bennyini bwe bawawaabira gavumenti omusango nnamba 227 of 2005 nga bakulembezzamu erinnya lya Kabaka nga baagala gavumenti ebaliyire bbiriyooni 192 ku ttaka lye limu bbo bennyini nga baanukula okwewozaako kwa ssabawolereza wa gavumenti balumiriza abantu basatu nti be baali mu kutwala ettaka lya kitaabwe olwali Ben Kiwanuka, Lawrence Sebalu ne Kiwanuka omulala. Kale oddira otya ettaka ly’omusajja ataamanyaa byaliwo mu 1968 nokulisaako Caveat. Awo woolabira nti tebaalina Caveatable interest.Pulaani yaabwe yali yanyaga ttaka lya Dr. Kasasa, abantu abantu abasatu tebaabawaabira oba Estates zaabwe kubanga bbo be beesibako nti be baali mu vvulugu wookyusa ettaka lya kitaabwe nga bali wamu nabakozi ba gavumenti be batoogera mannya gaabwe.Etteeka ligamba nti, “Amangu ddala nga Kamisona wa registration ng’afunye envumbo, Kamisona oyo ateekwa okutegeeza mu buwandiike omuntu oyo nnannyini ttaka kwe batadde envumbo.
Nnanyini ttaka bwaba yeekanzemu awandikira Kamisona okuggyako Caveat eyo.Kamisona olufuna okwemulugunya awandikira eyataddeko Caveat ng’amugamba nti agenda kuggyako envumbo ye okuggyako nga aleese order okuva mu kkooti mu nnaku 45, (edda zaali 60).Akazannyo akaakolebwa wakati wa Acting commissioner land registration (erinya lisirikiddwa) ne ba Wasajja bbo mu kifo kya caveator okutwala nannyini ttaka mu kkooti bagisabe obutaggyako Caveat, beekolamu mulimu ne beefula abamuwaabira (kamisona), ne bagenda mu kkooti bombi, ne bakkiriziganya ne bafuna interim order eya consent, ekintu ekyeraga obwerazi nti kyali bukumpanya ne balemezaako Caveat. Kamisona eyasaba kkooti order ate bakkiriranya ne bagenda bombi mu kkooti ne bafunayo interim eya consent ekyeraga nti waaliwo yalina oludda.Eyo order yafunibwa mu lukujjukujju nnanyini ttaka teyali mu kkooti.Nnannyini ttaka teyawebwa mukisa ekimenya ssemateeka ne kifuula Caveat eyo efu naye ekyennaku naye emirundi nannyini gye yagenda mu kkooti aggyeko caveat enfu tafunanga buyambi okutuusa omusango bwe gwagobwa omulamuzi Musene mu 2017 caveat n’eggyibwako. Etteeka, ligamba nti Caveat bweggyibwako teddako (ennyingo 140 mu RTA) naye laba wano tulina ebiwandiiko nga Wasajja akuba abirayiro bagizeeko era ne bagizaako wabweru wamateeka. Kimanyiddwa nti mu bya kkooti interim order emala ennaku 30, naye obwolumu eyinza okuwa ennaku 60 . Oba kukozesa linnya lya Kabaka tetumanyi Ekirala mu mateeka ng’oli asabye okuzza Caveat obujja oba okwongera , kkooti esobola okukikola kyokka ng’atadde ssente mu kkooti ezokusasula singa kizuulibwa nga yali bukyamu, kyokka Wasajja ne bannyina tebassangako ssente mu kkooti, ekitegeeza nti ebintu bye babadde bakola babadde bweru wamateeka.
![]() | ReplyForward |