Abakulembeze b’enzikiriza bakubiriziddwa okwewala amalala kubanga ekyo kikolwa kya bujeemu ewa Katonda era kiviirako bannaddiini okuva kw’ebyo Katonda bye yabagamba okukola olwo ne badda mu k ukola ebyabwe. Obubaka buno bwaweereddwa Omusumba Julius Muwonge owa God’s Grace Prayer Centre Church e Mukono bwwyabadde mu kutuuza omusumba Andrew Stephen Muwanguzi okusumba ekkanisa ya God’s Grace Prayer Centre International Ministries e Bukasa yategeezezza nti abasumba bangi baseerera ne bava ku nnono y’ensomesa ya Baibuli olwo ne badda mu kukola ebyabwe ekireetera eggwanga okubula.
Yategeezezza nti abaweereza abamu bava ku nnono y’eddiini ekiviirako n’abantu abandibadde balokoka okutya okukikola.
Muwonge yategeezezza nti abaweereza abamu bamanyi okwekuumira ewala n’abagoberezi ky’agamba nti kikyamu kubanga abasumba balina kubudaabuda bantu kubanga Katonda y’abatuma ku lw’abantu.
Andrew Stephen Muwanguzi yatuuzidwa ku busumba bw’ekkanisa ya God’s Grace Prayer Centre International Ministries e Bukasa yasiimye nnyo Katonda okumutuusa ku busumba buno n’asaba n’abantu okwongera okwekwata mu Mukama.
Yaweze nga bw’agenda okutambuliza obuweereza bwe ku nnono y’ekkanisa kubanga ekyo Katonda ky’asinga okwagala.