Nabbaambula w’omuliro asaanyizzaawo ebibanda by’embaawo ebisoba mu 100, mu Tomusange Zone mu muluka gwe Ndeeba mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Police y’abazinnyamwoto wetuukidde ng’ebintu ebisinga obungi bisaanyeewo.
Omuliro guno gukutte okulirana ekkanisa ya Victory Church mu Ndeeba ku ssaawa kkumi ng’obudde bukya, gulese emmali y’abasubuuzi okubadde embaawo, Enzigi, Emyango, ebyuuma n’ebintu ebirala bingi bifuuse muyonga.
Guno omulundi gwakubiri omwaka guno 2022,ng’omuliro gukwata negusaanyaawo ebibanda by’embaawo mu Ndeeba.