22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Nabeta akubirizza abayizi okusoma ebyakkompyuta mu luwummula.

Omubaka wa Jinja Southeast Division mu Palamenti, Nathan Igeme Nabeta akubirizza abayizi okusaba bazadde baabwe basobole okutendekebwa ebya kkompyuuta mu luwummula luno olutandise basobole okukuguka mu bya tekinologiya n’enkozesa ya kkompyuta.

Okusaba kuno, Omubaka Igeme yakukoze bwe yabadde akwasa essomero lya Masese Seed Secondary School kkompyuta ttaano ze yasase okuva mu minisitule ya ICT ne National Guidance. Kkompyuta yazikwasizza akulira essomero lya Masese Seed Secondary School, Hajati Aisha Male Igga ku Lwokutaano ng’abayizi tebannaba kuwummula.

Igeme yakubirizza abayizi okukozesa kkompyuta ez’omu curriculum eya Minisitule empya ey’okwongera obukugu mu bayizi ba siniya (Skilling program) basobole okukuguka mu nkozesa yaazo era bazikozese mu tekinologiya ow’enjawulo.

Igeme yategeezeza abayizi nti basobola okukozesa oluwummula lwe balimu okutendekebwa kkompyuuta olwo bagende okuddayo ku ssomero nga balina ku magezi ag’okukozesa kkompyuta eziri ku ssomero bongere okukuguka mu bye banaatendekebwa ku ssomero.

Kino kyakubanguyira okufuna emirimo newankubadde nga bakyasoma siniya.  Omubaka Igeme yasuubizza abakulira essomero okulaba ng’assaayio okusaba kwe eri minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo okulaba ng’ezimbira essomero lya Masese Seed kalina ey’emyaliiro esatu okunaabeera Computer Laboratory awamu n’ebibiina bya ssiniya 5 ne 6. 

Akulira essomero lya Masese Seed Secondary School, Hajjati Aisha Male Igga yasiimye Omubaka Igeme okubatwalira kkompyuta wabula n’amutegeeza ebimu ku bizibu bye bakyalina omwabadde ebibiina obutamala, okubulwa sitoowa y’ebintu ku ssomero, obutabeera na labalatole ssaayansi awamu n’ebikozesebwa.

Oluvannyuma Hajjati Male yamaze n’alambuza Omubaka Igeme essomero lya Masese Seed era bw’atyo n’amulaga ebimu ku bibiina ebyazimbisibwa embaawo ebiri ku ssomero abayizi mwe basomera. 

Abamu ku bayizi okwabadde omumyuka w’akulira abayizi ku ssomero eryo, Favour Asiimwe yasiimye gavumenti okubazimbira essomero erisobozesa abazadde baabwe bamufunampola okubatwalayo ne basobola okusoma. 

Marvin Ode,omuyizi wa siniya ey’okuna yasiimye omubaka Igeme okwetikka kkompyuta n’ayongerako nti bagenda kuzeeyambisa okukola okunoonyerezza okw’enjawulo, okusomera ku yintaneeti n’okufunirako amawulire ag’enjawulo agabagasa nga bo abayizi ku ssomero.

Related posts

Sentebe wa Mukono tatudde

OUR REPORTER

Amasasi ganyoose ng’amagye gasengula abatuuze ku ttaka ly’ekisaawe ky’e Namboole.

OUR REPORTER

Owek. Kyewalabye asabye ab’olulyo olulangira okwewala ababerimbikamu.

OUR REPORTER

Leave a Comment