JOHN Nagenda, 84, abadde omuwabuzi wa Pulezidenti ku by’amawulire okumala emyaka egisukka 20, eyafiiridde mu Medipal Internal Hospital ku Lwomukaaga abadde atambulira mu bulamu obwewuunyisa.
Azaalibwa omugenzi William Kyanjo Nagenda ne Sarah Mariam Bakaluba abaali ababuulizi b’enjiri era okumuzaala baali Rwanda mu 1938. Baagenda okukomawo mu Buganda nga wa myaka esatu.
Ekyewuunyisa mutabani waabwe Nagenda abadde yagaana eby’okusaba nga talinnya mu Kkanisa era ng’abantu babuusabuusa eddiini ye wadde nga bazadde be baali Bakristaayo abagundiivu. Abadde agamba nti eddiini teriiyo, wabula yaleetebwa Bazungu olw’ebigendererwa ebyabwe ebyali ebirala ennyo. Era ne bwe yali agattibwa ne mukyala we mu bufumbo obutongole baagenda wa ddiisi. Nagenda afudde yagaana Ekkanisa okumusabira.
Bazadde be mu buto baamutuuma amannya 4 okuli; John Nagenda Robin Mwesigwa. Kyokka abiri agasembayo abadde tagakozesa ng’agamba nti lwalisanga omuntu afaananya amannya ga John Nagenda lwalikyusa ebiwandiiko bye n’alyoka agagattako.

Abooluganda lw’omugenzi baategeezezza nti Nagenda abadde talina mwana ava mu ntumbwe ze, weewaawo ng’alina abaana basatu be yakuza era baabadde atwalira ddala nga b’azaala.
Abadde munnabyamizannyo ng’anyumirwa nnyo omuzannyo gwa Cricket era nga muwandiisi mu lupapula lwa New Vision, wadde ng’omuko gwe abamu babadde bagutenda okuba n’Olungereza oluzibu okutegeera.
Olutalo olwaleeta Gavumenti ya NRM olwa 1981-86 yalwetabamu nnyo ng’awagira abayeekera ba NRA abaali bakulirwa Yoweri Kaguta Museveni. Mu kiseera ekyo yali abeera Bungereza gye yali yawahhangukira.
Okusinziira ku kitabo kya ‘Ssemusota guli mu ntamu’ ekyawandiikibwa eyali Ssaabalangira Besweri Mulondo agamba Nagenda ye yaleeta ekirowoozo ky’okuleeta omulangira Ronald Muwenda Mutebi mu lutalo ekyazzaamu abantu ba Buganda amaanyi be bawagira abayeekera.
Oluvannyuma Omulangira Mutebi yalinnya ennyonyi ng’ali ne Nagenda okuva e London ne batuuka e Nairobi. Gye baava okugenda e Kigali n’oluvannyuma ne balinnya emmotoka eyabatuusa e Kabale gye baayanirizibwa Yoweri Museveni kennyini eyabakulemberamu okulambula ebitundu bya Buganda ku bugenyi obwamala wiiki ebbiri.
Omugenzia abadde n’amaka ku kyalo Bwotansimbi e Buloba ku lw’e Mityana ng’alinako ne ffaamu y’ente. Bamuzaala Namutamba mu disitulikiti y’e Mityana gy’alina ffaamu.

EBYAFAAYO BYA NAGENDA
l Yasomera Namutamba, Kings College Budo, Busoga College Mwiri ne Kigezi High School. Abamu ku be yasoma nabo kuliko; Polof. Mondo Kagonyera, Polof. George Kirya.
l Maama wa John Nagenda yali muganda wa maama w’eyali Katikkiro wa Uganda, Apolo Nsibambi ne maama wa Moses Matovu owa Afrigo Band.
Nagenda abadde yeemanyi ng’omu ku Bannayuganda abatono aboogera oluzungu, Abangereza bannyini lwo ne bategeera by’ayogera awatali kukaluubirizibwa.
l Mu lukungaana lwa CHOGM olwa 2007 olwali mu Kampala bwe yali ku kabaga e Munyonyo, yabuuza ku Kkwiini Elizabeth n’omulangira Phillip mu Lungereza ne baseka nnyo. Mikwano gye bwe baamubuuza ekyali kibasesezza yagamba nti kyabasanyusa okuwulira Omuddugavu ayogera nga bo Olungereza.