Omubaka wa municipaali ye’Mukono Betty Nambooze Bakireke asinzidde ku mukolo gw’o kutongoza emmotaka ambyulensi ku kitebe kya disitulikiti e Mukono eyaweredwayo omubaka omukyala owa distulikiti ye’Mukono Hanifer Nabukeera natabukira abantu abakozesa emmotoka za ambulensi ezirina okuddusa abalwadde mu malwaliro ate nebazifuula ezitambuza emirambo nti basaanye okukikomya kubanga kisobola okuvaako okusasanya ekirwadde naddala mu kiseera eya Covid 19.
Agambye nti banna Uganda balina okukimanya nti ambyulensi ziyamba kutasa bulamu bwa bantu sosi kutambuza bafude era abakikola bakikomye mangu kisobozese emotoka zino okukola emirimu gyazo Yebaziza omubaka Nabukeera okwelekereza nadukilira abantu b’e Mukono ne ambyulensi.
Hafiner Nabukeera eyawaddeyo ambyulensi agambye nti kino akikoze okusobola okutaasa ku bantu ababadde bafuna obuzibu kyokka nga tewali mmotoka zimala zisobola kubaddusa mu malwaliro okufuna obujanjabi nasaba abantu okukozesa obulungi.
Kkansala akikilira omuluka gw’e Nantabulirwa ku lukikko lwa Mukono Robert Sozi akuutidde abantu abalala abalina obusobozi okuvaayo nabo baddukilire n’ebintu ebikozesebwa mu buzibu naddala mu kiseera eky’omugalo
Akulira ebyobulamu muMunisipaali y’eMukono Dr. Anthony Konde nga yabadewo kulwa disitulikidi okukwasibwa ambulance yebaziza ombaka Nabukeera era neyeyama okugikozesa obulungi okuyamba banaMukono.