Essomero lya Namiryango College School mu Kyaggwe lijaguzza emyaka 121 mu nsiike y’ebyenjigiriza.
Emikolo gitandise n’emmisa ey’ekitiibwa ekulembeddwamu omwepisikoopi w’e Lugazi Bishop Christopher Kakooza.
Bwabadde ayigiriza, Bishop Kakooza asabye abakkiriza okweteekateeka obulungi batuuke ku Mazuukira ga Kristu nga basaanidde.
Awanjagidde abazadde okuyamba ku basomesa ku mulimu gw’okugunjula abaana naddala mu kiseera kino ng’ensi eringa ebuutikiddwa ebintu ebitategeerekeka.

Sipiika wa parliament Anita Among abadde omugenyi omukulu azzeemu akukinogaanya nti Parliament gyakulembera naye ng’omuntu tebajja kukkiriza muze gwa bisiyaga kwegiriisiza mu Uganda.
Avumiridde n’abakulu b’amasomero abalemedde ku kyokukaalaamya ebisale by’essomero n’agamba government emaliridde okuteeka ebyetaagisa byonna mu masomero.
Among awaddeyo ensimbi obukadde 50 okuyambako mu nzirukanya y’emirimu ku ssomero lino.
Constantine Mpuuga omukulu w’essomero lino yeebazizza government olw’okukuuma n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo obwokusasula abasomesa, ekiyambye mu kukuuma omutindo gw’essomero kati emyaka 121.