Nandala Mafabi era nga ye Ssaabawandiisi wa FDC yategeezezza nga bw’ajja okwanika Besigye ensi emutegeere kuba amakubo g’azze afunamu ssente emirundi gye yeesimbyewo ku bwapulezidenti gawuniikiriza.
Yamulangidde okubeera n’obuggya eri abalala kuba yali amanyi nti k’avudde ku bukulembeze kikomye.
Besigye bwe yava ku bukulu yalowooza nti kigenda kugwa kyokka yagenda okulaba ng’ekibiina kiremeddewo. Alowooza ye FDC era mbu w’atali tewali kiyinza kutambula ekitali kituufu.

Ekisooka tali omu ku batandisi ba FDC kuba we twakitandikira yali South Africa.
Yatusanga ekibiina tukitambuza era talina w’ayinza kulaga we yassa mukono mu kukitandika. Bulijjo ffe tugezaako okugamba abantu nti omusajja ono si mulungi, kyokka kati yeeragidde ddala obubi bwe.
Besigye bwe nnamuwa obukadde 300, yazitwala wa muganda we awola ssente ne bazoozaamu era ye yazikyusa okuziteeka mu ddoola.
Besigye buli ky’akola akikozesa mutima mubi n’obuggya era nsaba Bannayuganda baleme kutwala by’ayogera ng’ensonga,” Nandala bwe yayanukudde Besigye.