23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
Amawulire

Nantaba komya amalala n’akajanja- Museveni.

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni asabye ababaka ba palamenti abalondeddwa bulijjo  okulwanirira abantu ababalonda, naddala abo abagobaganyizibwa ku ttaka kuba babalinamu nnyo esuubi.

Museveni agamba nti ekibba ttaka kisusse nnyo mu Ggwanga, nga kino kye kiseera ababaka abalondeddwa okulwanirira abantu ababalonze nga bagobaganyizibwa abagagga ku ttaka kubanga, abantu babalinamu esuubi ddene nnyo olw’obuyinza bwe baabakwasa, nga ssinga babukozesa bulungi ababbi be ttaka baggya kufuuka lufumo mu Uganda.

Yagambye nti OMubaka Omukyala owe Kayunga Aidah Nantaba yali ekyamazima amanyi okulwanirira abantu be era yalwanagana nnyo n’abaali basengula abanaku ku makattaka e Kayunga nti kyokka yalinamu akajanja, amalala n’okwelabisa kye yagammbye nti kino kyamulemesaamu ku nkola ye mirimu.

Ono yalumbye eyaliko minista w’ebyettaka era omubaka omukyaala akikirira disitulikiti ye Kayunga,nti singa yali afaayo nnyo okulwanirira abanaku bokka ku ttaka nga tayingirira bilala, kyandimukoze bulungi kubanga yali mukazi mukozi nnyo.

Museveni okwogera bino abadde aggalawo olusilika lwa Babaka abaggya aba NRM olumaze wiiki 3 e Kyankwazi ku Ttendekero ly’ebyobufuzi n’ebyekijaasi.

“Mwe ababaka abalondeddwa, mulina kulabira ku muwala wange Judith Nabakooba owe Mityana, ono yalwanagana nnyo n’ababbi be ttaka kyokka akalulu bwe katuuka ne bamubbako obuwanguzi bwe” bwatyo Museveni bwe yategezezza ababaka obwedda abamuwa obuluulu.

Yasabye ababaka abalonde okwewala omululu ogw’akozesebwa ababaka ababadde mu Palimenti ewedde, nagamba nti bali baali tebajja kusakira bantu babwe wabula baali baagala kwekusa bokka nga abantu, nti era kilabika abantu kye bava baabasudde.

Related posts

Abantu 2 bafumitiddwa ebiso e Mukono omu n’afa.

OUR REPORTER

Omulabirizi Ssebaggala akubiriza abazadde okuzaayo abaana ku masomero.

OUR REPORTER

Abasodokisi  bakuziza olunaku Yesu lwe yabatizibwa mu mugga Yoludaani.

OUR REPORTER

Leave a Comment