Omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kayunga Erios Aidha Nantaba yawakanyizza engeri omulamuzi gyeyasazeemu omusango gw’omusajja Ssebulime eyali amuwondera n’agamba nti yabaddemu ebirumira bingi.
Omulamuzi Henry Kaweesa owa kkooti enkulu e Mukono yasalidde David Ssali ekibonerezo kya myaka 20 mu kkomera oluvannyuma lw’okukkriza nti yeyatta Ronald Ssebulime.
Wabula omubaka Nantaba yagambye nti omusango guno gwabaddemu katemba atagambibwa era ye teyakkiriziganyizza na nsala eno.
Mu kusooka, omusirikale wa poliisi bweyajja mu kkooti n’asomerwa omusango yasooka n’agukkiriza kyokka Looya we n’amukuba akaama n’awanika omukono ng’agwegaana ate oluvannyuma n’addamu n’agukkiriza.
Nantaba agamba nti ekyamwewuunyisizza, mu lutuula lwa kkooti olwayita, yategeeza omulamuzi nga bw’alina obujulizi bw’ayagala okuwa mu kkooti omulamuzi n’amulagira okubuleeta mu lutuula oluddako nti kyokka kyamwewuunyisizza bwe baakomyewo mu kkooti, omulamuzi yasaze busazi musango ng’agamba nti Ssali yabadde akkirizza nti ye yatta omugenzi.
Ab’oludda lwa Ssali bagamba nti baakirabye nti kyabadde kiyamba omuntu waabwe okukkiriza amangu omusango akendeezebwe ku kibonerezo okusinga okulemera ku kuwoza omusango gumusinge aweebwe ekibonerezo ekisinga kw’ekyo.
Kyokka Nantaba bino byonna abiwakanya n’agamba nti kyamulumye omulamuzi obutawuliriza bujulizi bwe ate nga yeyabumutuma omusango n’agusala mu ngeri eyo.
Alumiriza nti waliwo ekkobaane ly’ataategedde naddala ku poliisi olw’ebintu byebazze bakola ng’okukyusa kyusa obujulizi nga byonna birina ekigendererwa.
Yajjukizza nti mu ggwanga wazzeewo enkola ey’okuttanga abantu abatambulirwako ensonga mu misango eminene n’awa eky’okulabirako nti mu musango gwa Gen. Katumba Wamala abantu babiri abeesonga mu musango guno battibwa mu ngeri etategeerekeka.
Yayongeddeko nti singa omusango guno gwawozeseddwa bulungi obujulizi bwonna nebuggwayo, twandizudde omuntu eyawa Ssali ebiragiro okutta Ssebulime kyokka kati ebyo byonna byakomye awo.
Kyokka omu ku bannyina b’omugenzi Ssebulime, Sylivia Nakayita yagambye nti bo nga baganda b’omugenzi, tebaamatidde na kibonerezo kino.
Nakayita yagambye nti omugenzi yalina obuvunaanyizibwa bunene obw’okulabirira abaana be kyokka ebyo byonna by’akoma nga tebamanyi baana bano bwebagenda kuba.
Yalumbye n’omubaka Nantaba n’amugamba alekere awo okuyita mwannyinabwe omutujju kubanga teyali mutujju era ekituufu ye Nantaba akimanyi.