17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Nnaabagereka Naginda adduukiridde abaana abatalina mwasirizi

Nnaabagereka Sylvia Naginda adduukiridde abaana abatalina mwasirizi n’ebintu eby’okukozesa mu bulamu obwa bulijjo, n’akubiriza abantu okweyigiriza enkola ey’okuyamba abalina obwetaavu.

Omukolo gubadde ku kitebe ky’ekitongole ekijanjaba abantu abalina endwadde ezitawona ekya Hospice Africa Uganda ekisangibwa e Makindye

Nabagereka Sylvia Naginda ng’ayita mu kitongole kye ekya Nabagereka Development Foundation ng’aliwamu ne banamikago bakoledde abaana abateega okubeerwa akabaga ka ssekukkulu, mwebabaweredde ebintu eby’okubayamba okuyita mu nnaku enkulu naddala nga bali mu maka agabalabirira.

Ku kabaga kano Nnaabagereka Sylvia Naginda era awadde amaka agalabirira abaana aga Noah’s ark kimeeme w’embuzi ey’okugabula abaana bebalabirira, ng’abebaaza okumwegattako ku nsonga z’okulabirira abaana abetaaga okuweebwa.

Nnabagereka Sylivia Naginda yebazizza abantu bo na abaffaayo okusanyusa abaana naddala mu nnaku zino enkulu, era nasoomooza abo bonna katonda beyawa obusobozi nabo okubaako abaana bebaddukira mu nnaku nga zino.

Judy Kamaanyi nga memba ku lukiiko oluddukanya ekitongole kya Nabagereka ekya Nabagereka Development Foundation agambye nti Kirungi okuseembeza abaana abato, naddala nga babakolera obubaga kubanga kyawandiikibwa ne mu bitabo ebitukuvu.

Joy Mirembe akikiridde ssentebe w’olukiiko oluddukanya ekitongole kya Hospice Africa agambye nti omuwendo gw’abantu abalina endwadde ezitawona gugenda gweyongera okulinnya buli olukya.

Related posts

Owek. Mayiga asisinkanye abakyala abawandiika ebitabo.

OUR REPORTER

Omuzzukulu eyabula yeralikiriza jaaja we.

OUR REPORTER

Dr Besigye akungubagidde  Gen Tumwine.

OUR REPORTER

Leave a Comment