March 25, 2023
Image default
EbyemizannyoFeatured

Nnannyini bbaala ya Nexus e Najjeera afudde Corona

Abafamire n’emikwano bagenze ku bbaala ey’amaanyi eyitibwa Nexus esangibwa e Najjeera okukungubagira abadde nnannyini yo Ivan Kakooza.

Kigambibwa nti Kakooza yafudde Corona oluvannyuma lw’okuddusibwa mu ddwaaliro e Mulago ng’ali bubi.

Isaac Rucci abadde mukwano gwa Kakooza nfanfe yategeezezza nti yamukubira essimu n’amutegeeza nga bwe yali tawulira bulungi.

Rucci agamba nti yamuwa amagezi agende akeberwe Corona era nti oluvannyuma kyazuulwa nti yalina ssennyiga ono omukambwe.

Agamba nti Kakooza abadde ku byuma ebiwanirira amawugwe okussa okumala ennaku 14 kyokka ng’ ayogera bulungi era nti yeewuunyizza okumutegeeza nti yabadde afudde.

Rucci agambye nti eby’okuziika bakyalinda kulungamizibwa minisitule y’ebyobulamu.

Related posts

Mukyala wa Maj. Kakooza Mutale aziikiddwa

vega

LWAKI OMUBAKA NAMBOOZE ALEMEDDE KU BYOBUTWA :OULANYAH

OUR REPORTER

Abalamazi  okuva mu Ankole  abatambuza ebigere batuuse e Lukaya.

OUR REPORTER

Leave a Comment